TOP

Maj. Gen. Sabiiti awadde abaserikale ebiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Maj. Gen. Sabiiti awadde abaserikale ebiragiro

Fat1 703x422

Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi (ku kkono) n’akulira ettendekero ly’abaserikale e Bwebajja Dr. John Kamya.

POLIISI ewadde abaserikale baayo ekiragiro okukomya obugayaavu n'okwebakira ku mulimu.

Amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi bwe yabadde ku mukolo gw'okufulumya abaserikale 45 ababadde mu kutendekebwa e Bwebajja yagambye abaserikale bakome okumala ebiseera mu tulo wabula bakole ebibasuubirwamu. "Mukendeeze ku budde bwe mwebaka kuba waliwo emirimu egy’okukola era mukole ebintu mu kiseera ekituufu era ebibasuubirwamu”, Maj. Gen. Sabiiti bwe yategeezezza.

Yagambye nti ebintu abaserikale bye bakola n'abantu kwe balabira okusobola okuyamba poliisi era bamanye bye balina okukola nga bali ku mirimu.

Yategeezezza nti waliwo abakulira poliisi mu bitundu abava ku mirimu nga bukyali ekiwa abaserikale be bakulira n’abali wansi waabwe nabo okuva mu ofiisi n’abalabula okukikomya basigale ku mirimu bakole. Yagambye nti abaserikale okutendekebwa kigendereddwaamu okubawa obukuku nga balina okuteeka mu nkola bye bayize naddala okulwanyisa obumenyi bw'amateeka.

Yayongedde nti omwezi gwa August we gunaggweerako nga poliisi emaze okuteeka kamera ku nguudo mu kitundu kya Kampala n’emiriraano ng’ekyetaagisa kwe kutendeka abaserikale abazikolamu n’abo abali mu kulawuna n’okumanya ebifo eby’omutawaana.

Akulira ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa okutendeka abaserikale, Haruna Isabirye yagambye nti, poliisi yabakanye n’omulimu gw’okutendeka abaserikale abanaakuuma obutebenkevu mu kulonda kwa 2021 n'okutendeka abaserikale ab’amadaala aga waggulu basobole okukulembera abali wansi waabwe obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....