TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssente ezaabalirirwa mu ttaka ly’e Mutungo zongedde okutankanibwa

Ssente ezaabalirirwa mu ttaka ly’e Mutungo zongedde okutankanibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Ssente ezaabalirirwa mu ttaka ly’e Mutungo zongedde okutankanibwa

Kab2 703x422

Anthony Kimuli ne John Muwanga (ku ddyo)

OMUBAZI w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga ategeezezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka nti, omuwabuzi wa Gavumenti mu mateeka yawabula ng’agaana okusasula Dr. Muhammed Buwule Kasasa ku ttaka lye bakaayanira n’abaana ba Ssekabaka Muteesa II e Mutungo.

Bye yannyonnyodde nga bikontana n’omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti Mwesigwa Rukutana eyabadde mu kakiiko gye buvuddeko ng’ate ye yawabula n’akkiriza basasule Dr. Kasasa ssente newankubadde ng’ettaka lyali likyaliko enkaayana nga n’ensonga ziri mu kkooti.

Muwanga yagambye nti mu kunoonyereza nga babala ebitabo bya Gavumenti mwe yasanga ensonga nga minisitule y’ebyensimbi eragiddwa esasule ettaka eriri ku kasozi e Mutungo olw’ensonga z’ebyokwerinda kyokka nga tewali kunnyonnyola kusingako awo.

Ssente zaayisibwa ne basooka basasula akawumbi kamu n’obukadde 260, baali balina okulindako bafune okuwabulwa okuva ew’omuwabuzi wa Gavumneti ku by’amateeka kyokka okuwabula kw’agenda okujja nga ssente baazisasudde ennaku bbiri emabega. Endagaano kwe baasasulira Dr. Kasasa yabagibwa September 12, 2006 ng’eri wakati we ne Uganda Land Commission.

Eno baagiteekamu obukwakkulizo nga balina okumusasula ssente zonna omulundi gumu mu nnaku 60 bwe kirema bazibaliremu amagoba agafaananako n’aga bbanka z’ebyobusuubuzi kwe ziwolera ensimbi.

Omubalirizi wa Gavumenti omukulu Gilbert Kermundo naye yawuniikirizza akakiiko bwe yategeezezza nti, bannamateeka ba Dr. Kasasa aba Mugoya Kyawa & Co. Advocates baamuwandiikira ebbaluwa nga bamutegeeza nti y’asibye enteekateeka z’okusasula omuntu waabwe. Kermundo yagambye nti baasooka ne bamutuukirira nga baagala okukkaanya naye ateekemu amagoba agasukkiridde n’akigaana.

Yayongedde okunnyonnyola nti baali baagala akole lipooti ng’ewa Kasasa amagoba agakyukyuka n’embeera ya bbanka z’ebyobusuubuzi n’agaana kwe kubalirira ssente nga ne bwe zimala ebbanga eddene tezirina kusukka buwumbi musanvu kyokka naye kyamubuukako bwe yakiraba oluvannyuma nga bagamba nti okusinziira ku ssente Dr. Kasasa ze yalina okusasulwa n’amagoba nga bwe gakubisibwamu kati abanja obuwumbi 24.

Ettaka lino liri ku bbulooka 237 poloti 56,49,69 n’endala. Ettaka lino lirudde nga ligulumbya Dr. Kasasa n’Omulangira David Wassajja ku lwa famire ya Ssekabaka Muteesa II.

Gye buvuddeko, Omulamuzi Bamugemereire bwe yakulembedde akakiiko okugenda e Mutungo omujaasi n’abalemesa okutuuka mu bifo ebimu. Ekitundu ku ttaka lino eriweza mayiro, Gavumenti egenda kuyisaawo pulojekiti ng’ey’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka (Standard Gauge Railway) kyokka kati enkalu ziri ku ani omutuufu alina okuliyirirwa kubanga Dr. Kasasa agamba yaligula ku kkampuni ya Lake View Properties mu mya gya 1970 kyokka Wassajja akiwakanya ng’agamba nti kitaawe teyatunda.

Omulangira Wassajja yabaddewo mu kakiiko ng’abakungu ba Gavumenti bannyonnyola ebigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...