TOP

Ebya Dr Ssali bibi

By Edward Luyimbazi

Added 7th March 2019

Ebya Dr Ssali bibi

Sab1 703x422

Dr. Milburga Atcero (wakati ) ng’ava ku kkooti ne banne bwe baawawaabira Dr. Ssali ow’eddwaaliro lya Women’s Hospital International and Fertility Center olw’okulagajjalira muganda waabwe n’afa. Wansi ye Dr. Ssali.

KKOOTI ewozesa emisango gy’engassi etandise okuwulira omusango oguvunaanibwa Dr. Edward Ssali, akulira eddwaaliro ly’abakyala erya Women’s Hospital International and Fertility Center erisangibwa e Bukoto mwe bamuvunaanira okulagajjalira omulwadde eyali atwaliddwaayo n’afa.

Omusango guno gwawaabwa Dr. Milburga Atcero, muganda w’omugenzi Mercy Ayiru ng’ono yali atwaliddwa mu ddwaaliro lino okulongoosebwa ebizimba mu lubuto mu mwaka gwa 2010 kyokka n’afi irayo.

Mu musango guno, Atcero ne banne baagala kuliyirirwa olw’obulamu bwa muganda waabwe okukomezebwa abasawo b’eddwaaliro lino kyokka nga yalina ebintu ebirala bye yali akyasobola okukola.

Era baagala Dr. Ssali nnannyini ddwaaliro lino okusasulira obulumi bwe bayitamu n’okutaataaganyizibwa mu bulamu bwabwe okuva Ayiru bwe yabafaako. Omusango guno guli mu maaso g’Omulamuzi Musa Sekaana era nga ssentebe w’akakiiko k’abasawo aka Uganda Medical and Dental Practitioners, Joel Okullo Odom ye yasoose okuwa obujulizi ku musango guno.

Okullo yategeezezza nti mu kunoonyereza kwabwe nga aba Uganda Medical and Dental Practitioners baakizuula nti abasawo abaali balongoosa Ayiru baalemwa okutereeza obulungi olupiira olwali lugabirira omulwadde omukka gwa Oxgyen nga bagenda okutandika okumulongoosa nga kino kiraga nti obulagajjavu bwabwe bwe bwavaako Ayiru okufa.

Era yayongedde n’agamba nti Dr. Ssali yalina obuvunaanyizibwa bw’okulongoosa Ayiru kyokka yabweggyako n’abulekera Dr. Christopher Kirunda ne Dr. Rafi que Parker, Munnakenya eyali teyeewandiisanga kujjanjaba mu Uganda. Dr. Ssali yabategeeza nti Ayiru yafa oluvannyuma lw’okubulwa omukka gwa ‘oxygen’ nga bamulongoosa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...