TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikoleddwa okutangira ennyanja, emigga n’entobazzi okusaanawo

Ebikoleddwa okutangira ennyanja, emigga n’entobazzi okusaanawo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Ebikoleddwa okutangira ennyanja, emigga n’entobazzi okusaanawo

Jub2 703x422

Dr. Callist Tindimugaya nga ye kaminsona mu kitongole ky’amazzi n’obutonde bw’ensi.

ENNYANJA Wamala e Mubende ne Chad zikalidde ne zikendeera amazzi nga kivudde ku bantu abeetooloddewo abalina enkozesa embi ku nnyanja zino. Mukoka akulugguka okuva mu nnimiro zaabwe ne ku nsonzi ezaaliko ebibiira nga baabitemawo ne bisigala byererezi, olwo n’aggweera mu nnyanja. Ettaka n’amayinja ebijjidde mu mukoka byalegama ku mabbali g’ennyanja ekyavaako amazzi okugenda nga gakalira mpola.

Richard Kyambadde mu minisitule y’amazzi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’entobazzi agamba nti enkozesa embi ey’ennyanja zino y’evuddeko amazzi gano okukalira, ekireetedde ebyennyanja okuggwaamu. Mu mbeera eno minisitule y’amazzi tegenda kulinda bantu bamale okwonoona emigga , entobazzi n’ennyanja endala ezisigadde eryoke eveeyo .

Kyambadde agamba nti; “Tuli mu kaweefube w’okulwanyisa enkozesa embi ey’ennyanja, emigga n’entobazzi okusobola okusigala nga tukozesa amazzi gaabyo nga tugaganyulwamu mu kiseera kino ate n’abalijja babisange nabo babiganyulwemu.

Mu kawefube ono tulwanyisa enkozesa embi ey’ennyanja Nalubaale, tetukkiriza balimi okwesembereza embalama okuggyako nga balekaayo mmita 100 okuva ku nnyanja. Era mu bitundu ebyetooloddewo tusimbye ebika by’emiti egy’enjawulo mu kaweefube w’okuzzaawo ebibira okwetooloola ennyanja Nalubaale.

Kino kigenda kukendeeza ku mukoka abadde akulugguka n’aggweera mu nnyanja. Ebibira bitandise okuddawo nga bingi bisimbiddwa nga tubawa emiti.

LIPOOTA EKWATA KU NGERI EMIGGA, ENNYANJA GYE BIKALIRAAMU Mu lipoota eyakoleddwa minisitule evunannyizibwa ku mazzi n’obutonde bw’ensi eya 2017 eraga nti Uganda yonna etudde ku bwaguuga bwa 373,463 sq km.

Kuno kuliko ekitundu ekibutikiddwa amazzi omuli emigga , enzizi, ennyanja n’ebirala nga biwezaako 241,550sq km. Wabula ekyennyamiza, ekitundu ekibuutikiddwa amazzi tekikyawera kubanga amazzi gagenda gasaanyizibwawo nga gasigaddeko 21,497 sqkm nga bye bitundu 8.9 ku 100.

George Wamunga nga mukungu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ntobazzi n’emigga agamba nti mu ntobazzi zino mulimu ez’enkalakkalira nga tezisenguka mu kitundu yadde mu biseera by’omusana, ate endala zibeerawo mu biseera by’enkuba. Entobazzi ez’enkalakkalira zisinga kubeera mu masekkati g’eggwanga nga mulimu Ssezibwa, Lubigi, Mayanja, Nakivubo, Kinawattaka , Nakyesanja n’ewalala.

Entobazzi zaatondebwa lwa kusengejja amazzi gonna nga tegannatuuka mu nnyanja nga zikenenula ebicaafu ebyandibadde biyingira obutereevu mu nnyanja.

OKUSOOMOOZEBWA Nelson Waiswa nga mukungu mu minisitule y’amazzi n’obutonde agamba nti obuzibu bw’okusaanyaawo emigga, ennyanja n’entobazzi oyinza obutabulaba mu kiseera kino wabula ne bujja nga wayiseewo emyaka.

Waiswa agamba nti embeera y’emigga okukalira kikosa abantu mu ngeri ez’enjawulo. Muno mwe muvudde amataba naddala mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo naddala Bwaise, Namasuba - Batabata oluvannyuma lw’okusaanyaawo Lubigi ne Nakivubo abantu mwe beesenza.

Olw’okuba omulimu gw’entobazzi kusengejja mazzi kyokka nga zisaanyiziddwaawo kikosezza gavumenti nti esaasaannya ssente nnyingi mu kugula eddagala lya Chlorine erikozesebwa mu kusengejja obucaafu mu mazzi. Ssinga amazzi gakalira mu nnyanja kitukosa ffena kubanga amasannyalaze ge tukozesa nago gakendeera.

Amazzi amatono gabeera tegakyasobola kutambuza byuma bivaamu masannyalaze. Ekirala tufiiriddwa abalambuzi bangi abandibadde bagenda mu bifo omuli amazzi nga banyumirwa okugalambula.

Mu mbeera y’emu ebika by’ebyennyanja ebimu bitandise okuggwa mu ggwanga naddala ensonzi kubanga zizaalira mu bbumba, kyokka nga lisaanyiziddwaawo.

Ate emmamba nayo eyolekedde okusaanawo kubanga ebeera mu ntobazzi. Okusima omusenyu nakyo kivuddeko ebyennyanja naddala engege okufuuka ebyekkekwa.

Ebyennyanja bino bizaalira mu mazzi amatono mu musenyu mwe bibiika amaggi. Abasima omusenyu bwe basima batwaliramu amaggi agandivuddemu ebyennjanja. Ate empompogoma ezisigalamu za bulabe kubanga zifuula ennyanyanja ekiyanjayanja ekivaako amazzi okwewogoma mu mpompogoma oluvannyuma ne gakendera mu nnyanja.

Era okusiima omusenyu kwa bulabe kubanga kuleka ennyanja yonna esiikuuse. Amazzi gafuuka macaafu nga kivaako ebyennyanja okufa. Ate ebyuma ebikozesebwa okusima nabyo bya bulabe ku byennyanja olw’amaloboozi ge bikolaagagoba ebyen nyanja. Kino kivuddeko ebyennyanja okufuuka ebyekkekwa n’okulinnya ebbeeyi. Abalima ebimuli nabo bakoze kinene mu kwonoona entobazzi n’emigga. Balimiramu ebimuli ne bikaliza gattako okuteekamu eddagala eritta ebiwuka n’ebyennyanja.

MINISITULE KY’EKOZE OKUTANGIRA EMIGGA, ENNYANJA N’ NTOBAZzI OKUGGWAAWO Annet Nantongo avunaanyizibwa ku by’amazzi mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi agamba nti abantu tubasomesa omugaso gw’entobazzi, emigga n’ennyanja ne tubalaga obulabe ssinga bisaanawo.

Eri abo abeesenza mu ntobazzi nga bazimbyemu amayumba, okulimiramu n’okukoleramu emirimu emirala tutandise okubagobamu. Ate omuntu ayagala okwesenza okumpi n’entobazzi alina okulekayo mmita 30 okuva amazzi we gakoma. Ennyanja entonotono alekaayo mmita 100 ate ennyanja ennene aleekayo mmita 200. Kyokka abamu ku basenguddwa tubawa pulojekiti ze basobola okukola ne basobola okwekulaakulanya.

Abatuuze nga e Kamaliba twabawa enkoko, embizzi basobole okwekulaakulanya nga bye bimu ku byayonoonebwa mu kiseera omusumba Kakande bwe yali abasengula. Abalala tubawadde amagezi okwekolamu ebibiina by’okwekulaakulanya nga SACCO ne basobola okukolera awamu ne beegobako obwavu.

Mu nkola y’okuzzaawo ebibira, tugabira abantu emiti ne bagisimba ku ttaka lyabwe mu bifo ebigazi. Abalala tubakkiriza okufuna liizi ku ttaka ne basimba emiti kyokka nga pulojekiti zino zibeera zaabwe era baziganyulwamu. Twatondawo poliisi evunaannyizibwa ku bikwekweto mu bifo bino nga y’etuyambako okugumbulula abakozesa obubi amazzi.

Abazimbye amakolero mu bifo nga bino tubawa amagezi okuteekamu amasengejjero g’ebivudde mu makolero gaabwe bireme kugenda butereevu mu nnyanja. Wabula minisitule ewa abantu baffe omukisa gw’okukulaakulanya ebifo ebimu omuli entobazzi kasita batuukiriza ebisaliddwaawo.

Abamu ku bayinvesita tubawa omukisa okuzimba pulojekiti gye tulaba ng’eyambako okuggyawo obuzibu mu kitundu n’ereetawo enkulaakulana. Mu kitundu tuyinza okuba nga tulinamu oluzzi kyokka ng’amazzi agavaamu macaafu, ssinga yinvesita asalawo okuleetawo pulojekiti y’okutambuza amazzi amalungi mu kitundu tukyayinza okumuwa olukusa okukulaakulanya entobazzi awali oluzzi.

Olw’okuba kasasiro naye afuuse kizibu mu ggwanga twagula ebimmotoka ebikuhhaanya n’okuggya kasasiro nga biyambako okumukuhhaanya n’akendera mu Kampala.

Dr. Callist Tindimugaya nga Kaminsona mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi agamba nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu yenna okukuuma ebifo omuli amazzi bireme okusaanawo nga bafaayo okubitangira nga balima mu ngeri ennuhhamu okubiwa amabanga amatuufu lwe tujja okubiwangaza. Obutamansa kasasiro n’obucaafu naddala abata kazambi mu biseera ng’enkuba etonnye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...