TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Ekiseera kya kukyusa mu nneeyisa yaffe - Dr. Lwanga

Wab3 703x422

Ssabasumba Lwanga n’asiiga vvu mu Lutikko e Lubaga.

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yennyamidde olw’ettemu eryeyongedde mu ggwanga naddala erikolebwa ku baana abato. Bino yabyogeredde mu Mmisa y’okusiiga evvu mu Lutikko e Lubaga mw’asabidde Bannayuganda okukozesa obudde buno obw’ekisiibo okwezza obuggya n’okudda eri Omukama.

Dr. Lwanga yasabye Bannayuganda okusabira emirembe mu ggwanga n’amawanga agatuliraanye okutabagana ne bannaffe nga twefumiitiriza ku mmoto y’eggwanga lyaffe ‘Ku lwa Katonda n’Ensi yaffe.’

Yennyamidde olw’obutabanguko mu maka obweyongera buli lukya n’asaba Abakristu okumanya nti ekisiibo tekitegeeza kusiiba mmere wabula okukyusa mu nneeyisa yaffe naddala nga twewala ebikolwa ebitali bya Bwakatonda.

Yabakubirizza okukwata ebiragiro bya Katonda, okwagalana ne bantu bannaffe, okwegayirira, okukola ebikolwa eby’ekisa, okusoma Bayibuli buli lunaku n’okuyamba abali mu bwetaavu.

Ssaabasumba yasomedde Abakristu obubaka bw’Omutukuvu Paapa Francis eyayagalizza Bannayuganda ekisiibo ekirungi n’okusabira emirembe mu maka n’eggwanga lyonna. Bwanamukulu w’e Lubaga, Fr. Joseph Mary Bbuye yasabye Abakristu okukozesa ekisiibo okubonerera n’okuwagira emirimu gy’Omukama

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu