TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2019

Faaza Kaseeta asabye Abakristu okwekubamu ttooki mu bye bakola

Kop2 703x422

Faaza Kaseeta mu kusiiga vvu ku Vision Group. Ku ddyo ye Ssaabakristu Ssebowa.

FAAZA Joseph Kaseeta akubirizza abakkiriza okukozesa ekiseera kino eky’ekisiibo okuzza obuggya enkolagana yaabwe ne Katonda ne bantu bannaabwe. Bino yabyogeredde ku kitebe kya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde e Lugogo bwe yabadde akulembeddemu Mmisa y’okusiiga evvu.

Yasabye abantu okukomya okusalira bannaabwe emisango wabula bulimu omu yeekubemu ttooki alongoose ebitagenda bulungi mu maaso ga Katonda we n’okujjukira nti ku nsi tuli bagenyi.

Fr. Kaseeta yajjukiza Abakristu okunyweza empagi essatu enkulu mu kisiibo okuli okwegayirira, okusiiba n’okukola ebikolwa eby’ekisa. Yavumiridde emize egitali gya Bwakatonda egyeyongedde omuli okuggyamu embuto, obwenzi, okutulugunya abaana, obutabanguko mu maka, obulimba n’abatulugunya bannaabwe ku mirimu ne batuuka n’okubagobesa.

Yanenyezza abafumbo abakkakkana ku baagalwa baabwe ne babakuba emiggo, abakazi naddala abayimbi abambala enkunamyo n’agamba nti be bavuddeko obwenzi okweyongera.

Yasiimye kkampuni ya Vision Group olw’okusomesa Bannayuganda ng’eyita ku mikutu gyayo wabula ne yeekokkola bannamawulire ssekinnoomu abeenyigira mu kuwandiika amawulire ag’obulimba ku bantu n’ekigendererwa eky’okuboonoonera amannya.

Micheal Ssebowa, Ssaabakristu w’akabondo ka Yozefu Omutuukirivu akatwala Vision Group era nga ye mumyuka w’omukuηηanya wa Bukedde yasabye bakozi banne okuwaayo eri abanaku mu budde buno obw’ekisiibo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu