TOP

By'olina okukola okutaasa amatu okuziba

By Olive Lwanga

Added 7th March 2019

By'olina okukola okutaasa amatu okuziba

Lab2 703x422

Omusawo ng’akebera amatu g’omulwadde.

BANNAYUGANDA 5 ku buli 100 bakiggala ate ng’omuwendo gukyalinnya! Naawe osobola okufuuka kiggala ate embeera ekireeta oyinza okuba nga tonnagizuula kuba bangi temugenda mu malwaliro kukeberebwa bwe muwulira embeera etali ya bulijjo mu mbeera y’amatu gammwe.

Obutawulira tekibeera ku abo bokka abazaalibwa nga bakiggala wabula naawe osobola okuziba amatu olw’embeera ez’enjawulo. Mu Uganda abantu abasoba mu bukadde bubiri bye bitundu 5 ku 100 ekya Bannayuganda bonna tebawulira.

Obwakiggala bwe buzibu obubaao ssinga towulira ddoboozi, era nga kino kiva ku bintu eby’enjawulo omuli: 1 Okuzaalibwa n’obuzibu nga kyava mu kutondebwa mu lubuto. Abaana 3 mu baana 1000 bazaalibwa bakiggala, ebiseera ebisinga kitambulira mu musaayi. 2 Mu amu kiva ku kulwala nga kivudde ku kawuka ka vayiraasi.

3 Eri abataggya buuma obuwuliriza mu matu ate nga buleekaana baaziba dda amatu kuba kino kyonoona empulukutu zaago. Muno mwe mugendera n’abo abakolera mu bifo ebireekaana nga tebalina kye batadde ku matu gaabwe okuziyiza okugakosa. Mu bano mulimu abakolera we bakoona ebyuma, fakitole ezikozesa ebyuma eby’amaanyi ebiwoggana, abakuba ebidongo n’abalala.

4 Okufuna obukosefu obw’enjawulo n’ebinywa ebisangibwa mu matu okunafuyizibwa kivaako obutawulira. 5 Ssinga envumbo ekwata mu matu okumala ebbanga egazibikira n’otowulira.

6 Okutu bwe kukumbibwa yinfekisoni oba ne mujjamu obuzimba ku ngulu oba munda byonna biremesa okuwulira.

7 Akawulukutu bwe kabeerako obuzibu oba ne kayulika nga kivudde ku kusonsekamu ekintu mu kugasokoola. 8 Okukula mu myaka kikosa okuwulira kw’omuntu.

9 Olukusense oba amambulugga mu baana nga tebijjanjabiddwa mu bwangu kikosa amatu omuntu n’atawulira. Kuno kw’ogatta mulalama ne sukaali.

10 Waliwo ebika by’eddagala ebimu ebisobola okulemesa omuntu okuwulira okugeza nga bireeta okuwuuma mu matu.

KW’OLABIRA ATAWULIRA l Omuntu okuba ng’awuliramu katono nga waliwo ekireekaana.

l Okukaluubirirwa okutegeera ebigambo ebimu ebyogeddwa omuntu omulala oba mu bantu abangi.

l Okubuulira abalalaboogerere waggulu osobole okuwulira.

l Okwongeza eddoboozi lya leediyo oba ttivvi okusobola okuwulira.

l Okuva mu mboozi y’abalala n’oyogera birala.

OKUTANGIRA OKUZIBA AMATU 1 Kuuma bulungi amatu ng’ogayonja buli lunaku.

2 Kendeeza ku budde bw’obeera mu bifo ebireekaana oba kozesa ebintu ebiziyiza ebireekaana okukuyingira buli kiseera.

3 Weekebeze amatu go buli luvannyuma lw’ekiseera naddala ng’okolera mu bifo ebireekaana.

4 Komya okuteeka obuuma obuwuliriza amaloboozi mu matu nga Kola bino otangire amatu okuziba buleekaana okumala ebbanga eggwanvu.

5 Abakyala abali embuto balina okugenda mu ddwaaliro okunywa eddagala emirundi ena basobole okugemebwa n’okuweebwa obujjanjabi obulala obwetaagisa okutangira omwana ali munda okufuna obuzibu omuli n’okufuuka kiggala.

6 Okwewala okwejjanjaba nga tosoose kwebuuza ku musawo kuba oluusi gafa lwa kika kya ddagala ky’okozesezza naddala mu bukyamu.

7 Okuggya envumbo mu matu bwebaamu nga kino kikolebwa abakugu mu by’amatu mu malwaliro.

8 Weewale okumala gasokoola matu obutagakosa. Dr. Kaducu agamba nti, nga Gavumenti ya Uganda bataddewo enkola ezitali zimu okulaba nga batumbula ebyobulamu bw’amatu g’abantu omuli: Okubunyisa eddagala ly’amatu okuva mu National Medical Stores. Ebitongole ebijjanjaba amatu, ennyindo n’emimiro babitaddewo mu malwaliro ag’ebitundu nga Mbarara, Kabaale, Gulu, Soroti ne Jinja.

Ekitongole ekijjanjaba endwadde zino e Mulago baakigaziya n’okukiddaabiriza. Bataddewo pulojekiti ez’enjawulo ez’abalina obuzibu bw’amatu n’ebirala.

OBUJJANJABI

1 bw’oba ne yinfekisoni abasawo bakujjanjaba n’otereera.

2 bw’oba n’envumbo baginaazaamu n’otereera.

3 wabula waliwo abeetaaga okulongoosebwa ne bassibwamu obuwuma munda obubayamba mu kusika amaloboozi ne bugakasuka ku bwongo.

4 abalala babeera beetaaga buwuma bwe bambala ku bubayamba okusika amaloboozi. Olw’ensonga eno ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ekya World Health Organisation (WHO) kyasalawo okukuza olunaku luno buli lwa March

3. Minisita w’ebyobulamu ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu agamba nti, tukuza olunaku luno n’ekigendererwa eky’okwongera okumanyisa abantu ku ngeri gye tusobola okubeera n’amatu amalamu nga tuwulira bulungi n’okutangira ekizibu eky’obutawulira.

Era omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti, “Weekebeze okuwulira kwo” n’ekigendererwa ky’okulaga omugaso gw’okukebeza amatu buli kiseera okutangira obutawulira oba obwakiggala.

Mu nsi yonna abantu abasoba mu bukadde 466 balina ekizibu ky’obutawulira okusinziira ku kunoonyereza kw’ekitongole ky’ebyobulamu ekya WHO okwa 2018 nga guno gusuubirwa okulinnya okutuuka ku bukadde 630 we tunaatuukira mu 2030 ssinga tewabaawo kikolebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...