TOP

Sitampu enjingirire zikwasizza omumyuka wa ssentebe

By Moses Lemisa

Added 7th March 2019

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe wa Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III n’omuwandiisi Hiraly Natuha bakwatiddwa lwa sitampu njingirire

Nsanjangasobeddwa2 703x422

Nsanja ng'atwalibwa abitebye ebya sitampu enjingirire ze bamulumiriza. Yabyegaanye.

Bya MOSES LEMISA

 

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe wa Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe n’omuwandiisi Hiraly Natuha bakwatiddwa oluvannyuma lwa ofiisi ya RCC wa Kawempe Deborah Nabukenya okufuna okwemulugunya nti balina kye bamanyi ku sitampu enjingirire ezikubwa ku  biwandiiko by’abantu.

 

Bano okukwatibwa kivudde ku bantu okuli Shafik Mutebi, Enock Daka, Livingstone Muyanja ne Shamim Namutebi ab’omu Ssebina zooni okubakwata n’ebipapula by’okufuna densite nga kuliko sitampu ya DISO ey’ekicupuli. Baakulembeddemu abaserikale ne bakwata Nsanja n’omuwandiisi Natuha.

 

Muyanja omu ku balumiriza Nsanja yategeezezza nti bwe baagenze mu ofiisi ya LC mu Ssebina zooni, Nsanja yabasabye 20,000/- buli omu n’abasuubiza nti empapula agenda kuzibatwalira ewa DISO azikubeko sitampu ng’era bbo baabadde tebamanyi nti sitampu njingirire. Ate Shamim Namutebi yagambye baamuggyeeko 50,000/-.

 

“Nze sirina sitampu njingirire naye abazirina kuliko Lukundo ne Mpanga amanyiddwa nga kiviiri. Be basaba abantu ssente okubakubira ku biwandiiko byabwe sitampu. Mpozzi omusango gwe nnina ng’omukulembeze butabaloopa mu boobuyinza, kale nsaba kisonyiwo.” Nsanja bwe yeewozezzaako.

   

Ssentebe wa Ssebina zooni Jafaali Ssengendo yategeezezza Bukedde ku ssimu nti abadde takimanyiiko nti omumyuka we alina sitampu enjingirire nga kyamukubye wala okuwulira nti abaserikale bamukutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...