TOP

'Mukomye entalo mu Busiraamu mwekulaakulanye'

By Musasi wa Bukedde

Added 8th March 2019

"Abalowooza okwetemamu ebiwayi mbasekeredde kuba enkola eyo ereeta obusosoze mu ddiini n'ettemu okumerukawo wabula ekikolo n'eddagala kusigala nga muli bumu mu kwagalana n'okuwang’ana amagezi."

Sentebeakuliraakakiikokebyokulondamuugandamuslimsupremekansohajjiahmednnyagongakuutiraabasiramubelwengo 703x422

Ssentebe akulira akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda Muslim Supreme Council, Hajji Ahmed Nnyago ng'akuutira Abasiraamu b'e Lwengo.

ABASIRAAMU b'e Lwengo  balabuddwa okukomya omululu, enjawukana, okwetemamu n'entalo mu Busiraamu basobole okwekulaakulanya n'okutwala disitulikiti mu maaso.

"Okuva Kadhi wammwe lwe yafa, omululu gufuuse omululu, buli omu asika azza wuwe, mulowooza muyinza okutwala Obusiraamu mu maaso singa temweggyamu endowooza eyeekyana ekito.

"Abalowooza okwetemamu ebiwayi mbasekeredde kuba enkola eyo ereeta obusosoze mu ddiini n'ettemu okumerukawo wabula ekikolo n'eddagala kusigala nga muli bumu mu kwagalana n'okuwang’ana amagezi," ssentebe akulira eby'okulonda okuva mu Uganda Supreme Council, Ahmed Kayongo Nnyago bwe yategeezezza Abasiraamu.,

Yabadde akulembeddemu okusunsula amannya g’abeegwanyiza entebe ya Khadhi w'e Lwengo nga bano bakulondebwa akakiiko ka Uganda Moslem Supreme Council akakulira mufuti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje.

Kino kiddiridde eyali Khadi w’e Lwengo, Sheikh Juma Muweesi okufa mu August w'omwaka oguwedde nga mu kiseera kino Lwengo ebadde eri mu kattu k'obutaba na Khadi.

Nnyago akuutidde Abasiramu okuba abagumiikiriza nga bwe batambula ne Sheikh Kigongo Ssuuna akola nga Khadi okutuusa ng’akakiiko ak'enkomeredde kalonze Khadi anaabakulembera.

Ebimu ku bye basimbyeko essira okulonda abegwanyiza entebe ya Khadi kuliko okutunuulira obuyigirize, obukugu mu by’eddiini, empisa, obukozi n'ebirala.Amannya agaasunsuddwa kuliko; Sheikh Ismeal Kibuule ng'ono ye mwogezi w'Abasiraamu mu disitulikiti ate omuwandiisi w'Abasiraamu kwossa Sheikh Umar Kigongo Ssuuna  ng'ono ye Imaam w'omuzikiti gw’e Kaganda Moslem era nga y’akola nga Khadhi ow'ekiseera.

Ssentebe w’Abasiraamu mu Lwengo, Hajji Abudaratif Jjuuko asabye Abasiraamu obutekkiriranya bagende n'erinnya erinaaba liyiseemu mu mannya abiri agaweereddwaayo kisobozese okutwala emirimu gy'Obusiraamu mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...