TOP

Ono abuliddwa 200/- ne yeetaasiza ku kifugi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2019

ONO loodi newankubadde yakedde kwesogga kyalo ky’e Namuwongo okunoonya akasente, olunaku lwamusaze n’abulwa ne 200/- by’ateeka mu mpale.

Funayo 703x422

Wano yabadde yeegayirira bamukkirize ayingire mu kaabuyonjo. Mu katono, Omusajja ng’asiba empale oluvannyuma lw’okwetaasa.

Ekiseera kyatuuse ng’ayagala okugendako mu kaabuyonjo okwetaasa.

Olwatuuse ku mulyango akola ku kaabuyonjo n’amulagira asooke asasule 200/- kyokka nga tazirina.

Yagezezzaako okumwegayirira n’okumutegeeza ng’olunaku bwe lumwegaanyi mu bintu by’ensimbi nga tamuwuliriza.

Okumanya yabadde bubi bino obwedda abikola bwakwatiridde ffulaayi y’empale.

Kye yakoze kwe kusiba ensonyi ku mpagi n’aweta emmanju wa kaabuyonjo n’ayimirira ku kifugi ne yeetaasa ng’agamba nti talina gaabika kawago olw’abantu be yayise abatalina mutima musaasizi.

Waliwo atugambye nti ggaayi ono musituzi wa migugu e Namuwongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

Rat2 220x290

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola...

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...

Rab 220x290

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe...

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe n'akosebwa mu bwongo