TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sitampu enjingirire zikwasizza omumyuka wa ssentebe

Sitampu enjingirire zikwasizza omumyuka wa ssentebe

By Moses Lemisa

Added 10th March 2019

OMUMYUKA wa ssentebe n’omuwandiisi ebiwandiiko bye baakubako sitampu bibazaalidde akabasa bwe kizuuliddwa nti yajingirira sitampu za ofiisi ez’enjawulo okuli eya meeya, Diso, RDC n’endala.

Leeta 703x422

Omusango agwegaanyi n’alonkoma abazirina era emu bagizudde.

Isma Nsanja omumyuka wa Jafaali Ssengendo ssentebe wa LC1 mu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe n’omuwandiisi Hirare Natuha baakwatiddwa oluvannyuma lwa ofiisi ya Deborah Nabukenya omubaka wa pulezidenti e Kawempe okufuna obukakafu nga bwe balina kye bamanyi ku sitampu enjingirire ezikubwa ku biwandiiko by’abantu eby’enjawulo.

Bano okuzuulibwa kyavudde ku bantu abawerako okwabadde Shafik Mutebi, Daka Enock, Lingstone Muyanja, Shamim Namutebi ab’omu Ssebina zooni okukwatibwa n’ebipapula by’okufuna densite okwabadde sitampu ya Diso ey’ekicupuli.

Baakulembeddemu abaserikale ne bakwata Nsanja n’omuwandiisi Hirare Natuha.

Owa LC Livingstone Muyanja omu ku balumiriza Nsanja yategeezezza nti bwe baagenze mu ofiisi ya LC mu Ssebina zooni Nsanja yabasabye 20,000/- buli omu n’abasuubiza nti empapula agenda kuzibatwalira ewa Diso azikubeko sitampu ate Shamim Namutebi yagambye baamuggyeeko 50,000/-.

“Ffe tubadde tetumanyi nti sitampu gye yakubyeko njingirire kuba twagenze ku ofiisi ye nga twagala bbaluwa za densite, bwe yatusabye ssente ne tuzimuwa,” Muyanja bwe yategeezezza.

Nsanja yategeezezza nti omusango ogumuvunaanibwa tagumanyi wabula waliwo abavubuka okuli Victor Rukundo ne Moses Kiviiri abalina sitampu enjingirire nga ye omusango gwe bayinza okumuggulako kubamanya n’atabaloopa mu baabuyinza.

Nsanja yatutte abaserikale ewa Rukundo mu zooni ya New Bubajwe e Kawempe wabula tebaamusanzeeyo.

Ssentebe wa Ssebina zooni, Jafaali Ssengendo yategeezezza Bukedde ku ssimu nti abadde takimanyiiko nti omumyuka we alina sitampu enjingirire nga kyamukubye wala okuwulira nti bamukutte.

Ebimu ku biwandiiko ebyakwatiddwa biraga nti Nsanja yajingiridde omukono gwa Giso, Ahmed Alimanya mu kifo kya Diso Hassana Sabakaki.

Abaserikale abaakulembeddwa Giso, Ahmed Alimanya baayazizza amaka ga Nsanja asatu (3) mu Ssebina zooni wabula wakati mu kwaza omu ku bavubuka Nsanja b’alumiriza nti be balina sitampu enjingirire yaleese sitampu n’afuna w’agiteeka mu Kiggundu zooni n’akubira abamu ku batuuze we baba bagisanga.

Abaserikale era balambudde ebifo ebiwandiikibwamu abaagala okufuna densite okwongera okunoonya abalina ebiwandiiko ebiriko sitampu enjingirire.

Moses Mutebi ssentebe wa LC II mu muluka gwa Makerere III asabye abantu okuyita mu mitendera emituufu nga balina amabaluwa ge baagala.

Debora Nabukenya omubaka wa pulezidenti e Kawempe yategeezezza nti baludde nga bafuna okwemulugunya ku sitampu ezikubwa ku biwandiiko okuli eya Diso, Meeya n’eya RDC.

Yagasseeko nti Nsanja alina okutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be