TOP
  • Home
  • Essomero
  • Bukedde avuddeyo okusitula omutindo gwa Nyenga Boys

Bukedde avuddeyo okusitula omutindo gwa Nyenga Boys

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

MU kaweefube w’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga kkampuni ya kya Vision Group efulumya amawulire ga Bukedde erina enteekateeka ey’okuyambako amasomero agalabika nti gali mu mbeera mbi mu bitundu eby’enjawulo okwetooloola eggwanga.

Gaba 703x422

Abayizi ba St. Francis Nyenga Boys n’obutabo bwa PASS PLE

Mu nteekateeka eno amawulire agakubibwa mu nnimi ennansi okuli Bukedde, Orumuli, Etop ne Rupiny galiko amasomero ge gavuddeyo okuyamba mu byenjigiriza.

Mu mbeera eno Bukedde evunaanyizibwa ku ssomero lya St. Francis Nyenga Boys Primary School erisangibwa mu minisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Geoffrey kulubya akulira empapula z’amawulire ezifulumizibwa mu nnimi ennansi mu kkampuni ya vision group okuli ne Bukedde yategeezezza nti enteekateeka y’okuyamba amasomero gano emaze ebbanga era ereeseewo enkyukakyuka mu byenjigiriza mu masomero agakwatiddwaako. Amasomero gonna agakwatibwako gaasangibwa tegayisa bayizi mu ddaala lisooka mu bigezo bya PLE wabula kati bayita.

Okugeza essomero lya Esocotoit lyasobodde okufuna abayizi abaayitidde mu ddaala erisooka abasukka mu 10 omwaka oguwedde.

Ate essomero lya Ponalulu Primary School lye lyasinze mu PLE mu bitundu by’e Teso.

Yagambye nti omutindo essomero lya St. Francis Nyenga Boys gwe liriko si mubi wabula ku mulundi guno Bukedde egenda kufuba okulaba ng’eteekawo enkyukakyuka sinziggu mu byenjigiriza ng’ekolagana na buli muntu akwatibwako.

Kulubya mu kusisinkana omukulu w’essomero omuggya Foust Namukwaya n’omumyuka we Angela Nambaluha, baatemye empenda okulaba nga basitula omutindo gw’essomero lifuuke eryegombebwa mu kitundu.

Kulubya yategeezezza nti kisobokera essomero okututumuka ssinga buli akwatibbwako akola ekyo ky’asaanidde okukola era n’ayongerako nti Bukedde nneetegefu okuyamba abayizi nga eyita mu kubafunira obutabo bwa PASS PLE buli Mmande n’okubayambako ku bikozesebwa ebimu.

Abayizi naddala mu bibiina ebya wansi bagenda kubafunira ku butabo obw’okusoma omuli n’aka Toto akafulumira mu New Vision okulaba nga bongera okukaza Olungereza kuba kye kimu ku bivuddeko abayizi okukola obubi mu bigezo.

Namukwaya yagambye nti balina obuzibu obw’enjawulo bwe basanga wabula bafuba okulaba nga bugonjoolwa okulaba ng’abayizi basoma bulungi.

Yasuubizza okukolagana n’abazadde, bannaddiini n’abakulu mu byenjigiriza okulaba ng’asitula omutindo gw’ebyenjigiriza .

Yasabye abazadde okukozesa omukisa guno Bukedde gwe wadde essomero nabo batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe ng’okusindika abayizi ku ssomero n’okubafunira ebikozesebwa.

Kino kijja kuyamba abaana baabwe okusoma obulungi babe n’essuubi okuba n’obulamu obweyagaza mu biseera ebyomu maaso.

Kulubya yasabye abayizi naddala aba P7 ne P6 okujjumbira okukozesa akatabo ka PASS PLE akabaweebwa Bukedde kubanga kaakubayamba ssinga basoma ebikabeeramu omuli amasomo agatera okukaluubiriza abayizi okutegeera ate oluvannyuma ebibuuzo ebiyamba abayizi okwejjukanya bye baabasomesa okuva mu P3.

Akatabo ka PASS PLE kalungi kubanga kakung'aanyizibwa abasomesa abalina obumanyirivu okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe