TOP
  • Home
  • Essomero
  • Ababaka bazudde ebiwuniikiriza ku basomesa abakabassanya abayizi

Ababaka bazudde ebiwuniikiriza ku basomesa abakabassanya abayizi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

AKAKAIIKO akassibwaawo Palamenti okubuuliriza ku bigambibwa nti waliwo okukabawaza n’okukuluusanya abaana mu masomero kanjudde lipoota yaako ng’erimu ebyesittaza ababaka bye bazudde.

Laba 703x422

Abayizi mu kibiina.

Palamenti okussaawo akakiiko kano kyaddirira omubaka Anna Adeke Ebaju, akiikirira abavubuka abawala aba Uganda yonna okusaba ababaka okusitukiramu okulwanisa emize egy’okukabawaza n’okukuluusanya abaana ab’amasomero nga kivuddeko abaana naddala abawala okufiirwa emisomo gyabwe.

Ababaka bassa kimu ng’enkuyege ne bassaawo akakiiko mu April 2018 okubuuliriza ku mize era akakiiko ako kabadde kakulirwa Robinah Rwakoojo kaayanjulidde Palamenti lipoota yaako ku Lwokuna.

Akakiiko nga kabakanye n’omulimu guno, kaatalaaze Uganda ne katuukako mu masomero ga Pulayimale 11, aga Siniya nago 11, amatendero 2 agatendeka abasomesa ba Pulayimale, ne Yunivasite 9 nga yonna ababaka baagwa bugwi ne bazuula ebintu ebiwuniikiriza.

EBIZUULIDDWA

Akakiiko kaazudde nga ddala okukabawaza, n’okukabassanya abaana b’amasomero muze ogusaasaanye ennyo mu masomero n’amatendekero ku mitendera gyonna kyokka ekyewuunyisa abaana abakabawazibwa n’okukabassanyizibwa mu by’omukwano, abasinga obungi tebawawaabira bantu babatuusaako bulabe obwo.

Mu kubuuliriza kwabwe, ababaka baasobodde okwogerako n’abaana era kw’abo, ebitundu 39 ku 100 bakkiriza nti baakabassanyizibwa.

Okukabawaza n’okukulusanyizibwa okutuusibwa ku baana, ababaka baazudde nga kwa ngeri nnyingi, omuli: Okusendasenda abaana abawala n’obubonero, ebyokulya, ssente n’oluusi okubakozesaako ekifuba nga tebeesimidde.

Mu masomero agamu, abasomesa abalina emize egyo, balina obukodyo bwe bakozesa ku baana abawala, omuli okubatikka ebitabo okubitwala mu mayumba gaabwe, okukwata makisi z’abaana omusomesa ne yeefuula nti yeetaaga omwana agenda abeeko by’amunnyonnyola n’ekivaamu kumukaka mukwano.

Abasomesa ku yunivasite be basinga okukozesa akakodyo k’okukweka abaana obubonero oba okubasendasenda okubayingiza mu bikolwa eby’omukwano basobole okubawa makisi ezobwereere era omuze guno gwakazibwako “Sexua-lly transmitted marks” oba “sex for marks”.

Omuze guno, akakiiko kaazudde nti gusinga kwettanirwa basomesa abasajja kyokka akakiiko kaazudde nti n’abayizi abalenzi nabo mulimu abaabategeezezza nti baali bagudde mu buzibu obwo.

ABAKABAWAZA ABAANA B’AMASOMERO

babaanise Abaakakiiko baategeezezza mu lipoota yaabwe ey’emiko 132 nti abayizi baababuulidde amannya g’abamu ku basomesa n’abakungu ab’amasomero n’amatendekero abeenyigidde mu muze ogw’okubakabawaza n’okubakuluusanya mu by’omukwano, kyokka akakiiko amannya g’abasomesa abo kaagasirikidde.

Ababaka baategeezezza nti baasazeewo amannya obutagafulumya mu lipoota olw’ensonga ez’Ebyamateeka kyokka baasazeewo okugaweereza mu Minisitule ey’Ebyenjigiriza n’ebitongole bya gavumenti ebivunaanyizibwa banoonyerezebweko.

Ku mannya ga bakaggwa ensonyi abo, ababaka baategeezezza nti baaweererezaako n’amannya g’abaana be bagambibwa okukabawaza n’okukuluusanya basobole okuyamba mu kunoonyereza

EBIVAAKO ABAANA OKUKABAWAZIBWA

Akakiiko kaazudde ebimu ku bivaamu abaana b’amasomero okusendebwasendebwa abasomesa n’abantu abalala ababakabawaza omuli ; embeera ey’obwetaavu obw’ebikozesebwa mu masomero n’obulamu obwa bulijjo.

Ekirala ekivuddeko abaana okukabawazibwa, ababaka baazudde nga kiva ku bintu eby’obuseegu bye balaba ku ttivvi, n’emikutu gyempuliziganya emirala naddala egya yintaneeti ne basaba gavumenti esitukiremu okukirwanyisa.

Abaana abalala abakabawaziddwa, kizuuliddwa nga bettanira okukozesa ebiragalalagala era abalala balina endowooza ez’obuwangwa n’amadiini ezibatuusa okweyingiza mu by’omukwano nga bakyali mu myaka emito.

Mu lipoota eno, ababaka baazudde ebyesisiwaza ebituuse ku baana abakabawaziddwa naddala ab’omu masomero aga Pulayimale omuli okuzaala nga tebaneetuka, okulwana ebirwadde ebiva ku bukaba , okuggyamu embuto , okufa n’okuwanduka mu masomero n’ebirala

EBISEMBEDDWA

  1. Ababaka basembye nti etteeka ly’ebyenjigiriza erya Education Act, 2OO8 likolebwemu ennoongoosereza abaana abafuna embuto nga basoma bakkirizibwe okusigala mu ssomero so si okugobwa nga bwe guli kati era kino ababaka baagambye nti kirina okukolebwa obutasukka December, 2O19.
  2. 2. Akakiiko kasembye, gavumenti esitukirewo mu bwangu okunoonyereza ku basomesa n’abakungu abagambibwa okutulugunya n’okukabawaza abaana era gwe gukka mu vvi akangavvulwe ng’amateeka bwe galagira omuli n’okugobwa ku mulimu n’okusibwa
  3. 3. Ababaka basembye amasomero n’amatendekero gasseewo enkola ey’okubikkirira abantu abawa amawulire ku bantu abakabawaza n’okukuluusanya abaana, kiyambe abantu abalala okuloopa bakaggweensongyi.
  4. 4. Minisitule ey’ebyenjigiriza esseewo enkola ey’okutimba amannya g’abantu abenyigira mu mize egy’okukabawaza n’okukuluusanya abaana ssinga babeera basingisiddwa emisango era n’ebibonerezo bye babeera baweereddwa bitimbibwe okutangira abalala.
  5. 5. Akakiiko akavunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu aka National Councll for Higher Educatlon (NCHE) kasseewo amateeka aganaalambika amasomero n’amatendekero ku birina okukolebwa okulwanyisa okukabawaza n’okukuluusanya abaana abasoma era kino ababaka basembye kikolebwa obutasukka June 2019.
  6. 6. Ababaka baasembye nti abasomesa nga tebannawandisibwa mu masomero n’amatendekero basooke kunoonyerezebwa okukakasa nti abalina emize egyo bawandulwa nga tebannaweebwa mirimu.
  7. 7. Akakiiko kasembye abasomesa n’abaddukanya amasomero n’amatendekero baweebwe nga emisomo buli luvannyuma lw’ekiseera ekigere, nga basomesebwa ku mateeka agakwata ku kulwanyisa okukabawaza n’okukuluusanya abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe