TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bukedde avuddeyo okusitula omutindo gwa Nyenga Boys

Bukedde avuddeyo okusitula omutindo gwa Nyenga Boys

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

Bukedde avuddeyo okusitula omutindo gwa Nyenga Boys

Sib2 703x422

MU kaweefube w’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga kkampuni ya kya Vision Group efulumya amawulire ga Bukedde erina enteekateeka ey’okuyambako amasomero agalabika nti gali mu mbeera mbi mu bitundu eby’enjawulo okwetooloola eggwanga. Mu nteekateeka eno amawulire agakubibwa mu nnimi ennansi okuli Bukedde, Orumuli, Etop ne Rupiny galiko amasomero ge gavuddeyo okuyamba mu byenjigiriza. Mu mbeera eno Bukedde evunaanyizibwa ku ssomero lya St. Francis Nyenga Boys Primary School erisangibwa mu minisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Geoffrey kulubya akulira empapula z’amawulire ezifulumizibwa mu nnimi ennansi mu kkampuni ya vision group okuli ne Bukedde yategeezezza nti enteekateeka y’okuyamba amasomero gano emaze ebbanga era ereeseewo enkyukakyuka mu byenjigiriza mu masomero agakwatiddwaako.

Amasomero gonna agakwatibwako gaasangibwa tegayisa bayizi mu ddaala lisooka mu bigezo bya PLE wabula kati bayita. Okugeza essomero lya Esocotoit lyasobodde okufuna abayizi abaayitidde mu ddaala erisooka abasukka mu 10 omwaka oguwedde. Ate essomero lya Ponalulu Primary School lye lyasinze mu PLE mu bitundu by’e Teso.

Yagambye nti omutindo essomero lya St. Francis Nyenga Boys gwe liriko si mubi wabula ku mulundi guno Bukedde egenda kufuba okulaba ng’eteekawo enkyukakyuka sinziggu mu byenjigiriza ng’ekolagana na buli muntu akwatibwako. Kulubya mu kusisinkana omukulu w’essomero omuggya Foust Namukwaya n’omumyuka we Angela Nambaluha, baatemye empenda okulaba nga basitula omutindo gw’essomero lifuuke eryegombebwa mu kitundu.

Kulubya yategeezezza nti kisobokera essomero okututumuka ssinga buli akwatibbwako akola ekyo ky’asaanidde okukola era n’ayongerako nti Bukedde nneetegefu okuyamba abayizi nga eyita mu kubafunira obutabo bwa PASS PLE buli Mmande n’okubayambako ku bikozesebwa ebimu.

Abayizi naddala mu bibiina ebya wansi bagenda kubafunira ku butabo obw’okusoma omuli n’aka Toto akafulumira mu New Vision okulaba nga bongera okukaza Olungereza kuba kye kimu ku bivuddeko abayizi okukola obubi mu bigezo. Namukwaya yagambye nti balina obuzibu obw’enjawulo bwe basanga wabula bafuba okulaba nga bugonjoolwa okulaba ng’abayizi basoma bulungi.

Yasuubizza okukolagana n’abazadde, bannaddiini n’abakulu mu byenjigiriza okulaba ng’asitula omutindo gw’ebyenjigiriza Yasabye abazadde okukozesa omukisa guno Bukedde gwe wadde essomero nabo batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe ng’okusindika abayizi ku ssomero n’okubafunira ebikozesebwa. Kino kijja kuyamba abaana baabwe okusoma obulungi babe n’essuubi okuba n’obulamu obweyagaza mu biseera ebyomu maaso.

Kulubya yasabye abayizi naddala aba P7 ne P6 okujjumbira okukozesa akatabo ka PASS PLE akabaweebwa Bukedde kubanga kaakubayamba ssinga basoma ebikabeeramu omuli amasomo agatera okukaluubiriza abayizi okutegeera ate oluvannyuma ebibuuzo ebiyamba abayizi okwejjukanya bye baabasomesa okuva mu P3. Akatabo ka PASS PLE kalungi kubanga kakuh− haanyizibwa abasomesa abalina obumanyirivu okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye