TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basiimye Nnabagereka ku kutumbula okuyimusibwa kw'omwana omuwala

Basiimye Nnabagereka ku kutumbula okuyimusibwa kw'omwana omuwala

By Dickson Kulumba

Added 11th March 2019

“Ng’abakyala twetaaga obukulembeze obunaatuyamba okutakula ku nsonga ezisoomooza enkumu ze tusanga okuli obuli bw’enguzi n’ebirala nga byetaaga abakulembeze abeewaddeyo bwe kityo mbasaba mwe bannalotale okutendeka abaana abawala n’okubawa obusobozi okwanganga okusomoozebwa kwe basanga mu bitundu gye babeera.”

Nabagerekalotale9b 703x422

Gavana wa Lotale atwala Uganda ne Tanzania, Sharmila Bhatt ng'akwasa Nnabagereka ekirabo ekimusiima okutumbula ensonga z'abaana abawala mu ggwanga.

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda asiimiddwa abakyala bannalotale olw’obukulembeze bw’alaze mu kutumbula okuyimusibwa kw’omwana omuwala n’abakyala mu ggwanga okutwalira awamu.

Bino byabadde ku Serena Hotel ku Lwomukaaga ku kijjulo ky’abakyala bannalotale ng’ekirabo kino kyamukwasiddwa Gavana wa lotale atwala Uganda ne Tanzania,  Sharmila Bhatt.

“Ng’abakyala twetaaga obukulembeze obunaatuyamba okutakula ku nsonga ezisomooza enkumu ze tusanga okuli obuli bw’enguzi n’ebirala nga byetaaga abakulembeze abeewaddeyo bwe kityo mbasaba mwe bannalotale okutendeka abaana abawala n’okubawa obusobozi okwanganga okusomoozebwa kwe basanga mu bitundu gye babeera,” Nnabagereka bwe yasabye abakyala abaliko we batuuse okuyamba ku bannabwe.

Omukolo guno gwategekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Balancing for better’ (okwenkanyankanya olw’obulungi bwa buli muntu) era Omukyala Carol Muyoka - Munnamateeka eyabadde omwogezi ow’enjawulo ng’ono nzaalwa y’e Kenya yasabye abakyala okukuza abaana abalenzi mu ngeri y’emu ng’abaana abawala kuba mu kino baakukula nga tebayisa maaso mu baana bawala, ate okulwanirira n’okutumbula ensonga z’abakyala zakwanguwa.

Pulezidenti wa lotale ya Kampala- Naalya, Denis Jjuuko yategeezezza nti emyaka 30 abakyala gye bamaze nga beegasse ku lotale gisitudde nnyo ekitongole kino kubanga bamalirivu era nga kibeera kikulu okubasiima mu kiseera ng’ensi ejaguza olunaku lw’abakyala.

Abakyala abasukkulumye ku bannaabwe mu bintu eby’enjawulo basiimiddwa olw’obuweereza bwaabwe n’ebirabo nga Ruth Nvumetta Kavuma omutandisi wa Forum for African Women Educationalist (FAWE) yasiimiddwa mu kkoowe ly’obukulembeze, Gerry Opoka owa Soul Fitness Ltd ye yasinze mu kkoowe ly’obuyiiya ate Vivian Kityo owa Wakisa ministries n’asinga mu kkoowe ly’obuweereza eri abantu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeetabye ku kijjulo kino n’ategeeza nti enkungaana bwe ziti nnungi mu kutendeka n’okulambika abakyala era kya kubeera kyangu okubitunulamu okulonda abaweereza abakyala. Oluvannyuma yakwasizza Muyoka ekirabo ekyamuweereddwa.

Abatumbuzi b’ensonga z’abakyala okuli Victoria Ssekitoleko- omukugu mu by’obulimi, Ritah Opondo ng’ono yakulira ekibiina ky’abakyala-UWONET ne Phyllis Kwesiga ng’ono wa KK Consulting Architects (mukubi wa pulaani),mu kukubaganya ebirowoozo basabye kaweefube akolebwe buli mwana muwala atwalibwe mu ssomero ng’eno gye bajja okuyigira eddembe lyaabwe ate n’okwekkiririzaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.