TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine gwe yawanzeeko eddusu amuddire mu bigere e Kyaddondo awaga

Bobi Wine gwe yawanzeeko eddusu amuddire mu bigere e Kyaddondo awaga

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

OMULANGIRA Kharid Simbwa People Power gw'ewanzeeko eddusu okusikira Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine asekeredde abalina endowooza y’okumwesimbako nti bagira banuuna ku vvu kubanga ebyobuvuzi si bizinensi nti buli omu atandika.

Mah 703x422

Simbwa yagambye nti waliwo abantu abajja mu byobufunzi nga babitwala nga bizinensi okufunirako ekyokukola ekitali ku ye alina ebintu bye yeekoledde ekigenda okumusobozesa okuweereza obulunji abantu b'akiikirira, nga tasoose kwerowoozaako ng’omuntu.

Yategeezezza nti oluvannyuma lwa Bobi Wine okulengera entebe ennene yalabye nga ye muntu omutuufu agwanidde okumuddira mu bigere okusobola okunaazaako abantu ennaku abasigale nga basanyufu nga bwe babadde nga Kyagulanyi abakiikirira.

Simbwa yagambye nti omubaka alina obuvunaanyizibwa okusitula ekitundu kye nga ateekawo enjawulo wakati w'ekitundu kye n'abalala gye bakiikirira, yawadde ekyokulabirako nti mu kitundu ky’e Kyaddondo East, Bobi Wine gy'akiikirira abaana abayingira mu masomero banji tebamalaako abasinga bakoma mu S.4 abalala S.6, batono nnyo abatuuka ku University, bw'atyo ne yeeyama nti ebbanga ly'anaabeera omubaka w’ekitundu kino waakusala amagezi okusitula ebyenjigiriza.

Yategeezezza nti ebbanga lyamaze nga tali mu byabufuzi asobodde okufunira abantu emirimu ebweru w’eggwanga, n'asaba abantu b’e Kyaddondo East okumuwa obuvunaanyizibwa kw'anaasinziira okwongera okusitula omutindo gw'abantu naddala abavubuka mu by’enfuna byabwe.

Omulangira Khalid Simbwa y’omu ku beesowoddeyo okuvuganyanya ku bubaka bwa palamenti mu kitundu ky’e Kyaddondo East ekirimu omubaka Bobi Wine mu kiseera kino eyavuddeyo n'alangirira nti mu 2021 agenda kwesimbawo ku ntebe y'Obwapulezidenti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...