TOP

Abakyala bayaayaanidde engalo za Chris Evans

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

Abakyala bayaayaanidde engalo za Chris Evans

Fub2 703x422

Chris Evans ng'abuuza ku bawagizi be

Bya Lawrence Mukasa

OMUYIMBI Chris Evans Kaweesi alaludde abakazi kulunaku lwabakyala nebamuyiikira nga buli muntu ayagala wakiri amukwateko mukiwato awulire oba ddala kituufu alina waaka ate abandi nga baagala kumanya ekikyamulemeseza okufuna omukazi ngaate obusobozi abulina.

Evans yasoose ku Lovia gardens e Lugazi neeno yakubye abadigize baayo obuyimba bwe bwonna obwomukwano okwabade Bwolonda,linda,Leero lwaffe ,kisaganda,Ndikusasulaki nendala nyingi olwo buli eyaze nowuwe namukwata mukiwato nebatandiika okulumya buli eyabadde yayise yekka.

Bweyavudde wano yayolekedde Ssemuto kubbala ya Hill top gardens era ngeeno abakyala baayo basudewo abaami babwe bebaze nabo nebayaayanira Evans obweda bakira buli omu ayagala okumukwatako amuwulire era bakira abamu bawulirwa nga bagamba tebagenda kunaaba mungalo paka nkeera olwokukwata ku Evans.

Evans olwavudde wano nayolekera ebbala ya Auto Spa e Munyonyo gyeyasanze byana biwala emyamyuuka nga bimulindiride olwo nalyoka asumulula obuyimba bwe obwomukwano nebilyoka bisunda ebbidde kumpi kulimala mubbaala era yatuuse okudduka ku siteegi nga bikyayoya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi