TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita w'enkulaakulana e Mmengo akyazizza Namayanja okusala entotto ku bukulembeze bw'abakyala

Minisita w'enkulaakulana e Mmengo akyazizza Namayanja okusala entotto ku bukulembeze bw'abakyala

By Dickson Kulumba

Added 11th March 2019

Minisita w'enkulaakulana e Mmengo akyazizza Namayanja okusala entotto ku bukulembeze bw'abakyala

Hop2 703x422

Dr Nankindu akulira eby'\enkulaakulana e Mmengo ng'ayogerera mu nsisinkana gye babaddemu Rose Namayanja e Mmengo olwaleero

MINISITA w’enkulakulana y’abantu ba Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti okukulakulanya abantu ba Buganda kujja kwetaagisa abakulembeze bonna okukwatira awamu okusobola okutumbuyla embeera z’abantu.

Bino Dr. Nankindu yabyogeredde Bulange- Mmengo olunaku lw’eggulo (Mmande) bweyabadde akyazizza Omuwanika w’ekibiina kya NRM(National Resistance Movement) mu ggwanga nga kino ky’ekiri mu buyinza naasomooza Bannabyabufuzi okwongera okusakira Obwakabaka busobole okutukkiriza obuvunanyziibwa bwaabwo.

 inisita ankindu ne nomuwanika wa  e mengo Minisita Nankindu ne n'omuwanika wa NRM e Mmengo

“ Abakulembeze naddala bannabyabufuzi bandibadde bavaayo okumanya baani bebasobola okukwatagana nabo okutumbula embeera y’abantu ba Ssabasajja naye gwe abasoose obalaze ky’okukola. Twagala okusuubiza nti tuli betegefu okukola enteekateeka zonna ezigenda okukulakulanya abantu ba Buganda bonna,”Dr. Nankindu bweyategezezza.

Abakulu bombi bano basoose mu kafubo era bwebavuddemu Dr. Nankindu nategeza nti Namayanja nga munnankobazambogo yazze okumuyozayoza okutuuka ku Bwaminisita saako n’okwebaza Kabaka olwa minisitule eno ennene ekwata ku nkulakulana y’abantu nagikwasa omukyala.

Minisitule eno erimu ebiti ebiwerako okuli eby’obulamu, eby’enjigiriza, Abakyala n’ekikula ky’abantu saako n’ensonga za ofiisi ya Nnabagereka.

Mu kwogera kwe Namayanja yasabye Dr. Nankindu essira alisse mu kutumbula obukulembeze mu bakyala kubanga abakyala abakulembeze mu Buganda bwebaneyongera Buganda yakudda ku ntikko.

“ Minisita musabye nti nga tutandika ensonga z’abakyala,omulimu tugutandikire mu bakyala b’e Bulemeezi eyo nange gyenva gulyoke gusasanire Obwakabaka bwonna. Ensisinkano ebadde nnungi kubanga engeri gyetukyali mu bijjaguzo by’olunaku lw’abakyala, ensonga z’abaana abawala n’abakyala okuteekebwa ku mwanjo kyakwongera okukyusa obulamu bwaabwe,” Namayanja bweyayogedde.

Namayanja nga yaliko omubaka omukyala akikkirira disitulikiti y’e Nakaseke mu Palamenti mu ssaza ly’e Bulemeezi yakunze abantu b’ekitundu kino okwetegekera okwaniriza Kabaka mu maanyi eyasimye okukuliza amazaalibwa ge ku Ndejje SS mu ggombolola y’e Nyimbwa nga April 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Naki 220x290

Grace Nakimera akomyewo na maanyi...

Grace Nakimera akomyewo mu nsike y'okuyimba abadde yawummulamu asooke atereeze obufumbo

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...