TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukomye okunnyooma olw'okuba ndi mukazi-Mugagga Nabukeera

Mukomye okunnyooma olw'okuba ndi mukazi-Mugagga Nabukeera

By Joseph Mutebi

Added 11th March 2019

Mukomye okunnyooma olw'okuba ndi mukazi-Mugagga Nabukeera

Nab4 703x422

Christine Nabukeera nannyini kizimbe kya Kiseka Auto ng'alabula abasuubuzi abamuyisaamu amaaso

OMUGAGGA Christine Nabukeera nannyini kizimbe kya Kisekka Auto Centre alabudde abasuubuzi abakolera mu kizimbe kye kino abakedde okumuwamba nga bamutiisatiisa obutateeka ssente ze yabongezza mu nkola nti tekigenda kusoboka.

“Nze ssente eziri mu buwumbi ezagula poloti okwazimba ekizimbe kino ne zakizimba zennyini nazeewoola mu bbanka naye olwokuba mmanyi ebyenfuna by’eggwanga nti tebiri bulungi kyenvudde mala emyaka egisukka mu etaano nga sibongeza nga wadde ekikumi naye nange nnyigirizibwa” Bwatyo Nabukeera bwategeezezza.

Ayongeddeko nti abasuubuzi kye bakoze okumuwamba n’okumwononera mmotoka ye bakikoze lwakuba bamunnyooma nti mukyala naye ye tatidde kuba ng’alina okulaba ng’asasula ssente za bbanka zeyewoola nga buli ludda terunnyigiriziddwa era n'asaba abasuubuzi bonna nti bwewabaayo alowooza nti bamwongeza ssente nnyingi agende ku kizimbe ekirala.

Agambye nti abasuubuzi ssente za massanyalaze ze bamuvunaana nti abasoloozaamu abasabye beerondemu omuntu agenda ng’okuzibakung'aanyamu abasasulire amassanyalaze n’omulala ayagala kabuyonjo okuzisolooza naye waddembe okuzimusaba kasita bamuwa ssente ze nga bwazaagala okutandika April/2019.

Ayongeddeko nti weewunya abasuubuzi bano bwebalaba omuntu abakwasa ekisa nga nze ate bampisa bubi ate ng’ababagagyako ssente ennyingi tebalina kyebaboogerera kibi  naye nze mbakakasa nti buli musuubuzi agya kunsasula ssente ze namwongeza.

Mbadde abasuubuzi bano mbongerako ssente ku ssente za kasasiro, eza massanyalaze biiru ebeera mu bukadde 16 kyokka nga zonna baagala nze mba azibasasulira, kabuyonjo babagyako 200/- tebaagala zisasula ne kalonda omulala kati abakola obulungi beetaga atya?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...