TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Nammere balaze obutali bumativu ku atwala eby'okwerinda mu kitundu

Ab'e Nammere balaze obutali bumativu ku atwala eby'okwerinda mu kitundu

By Moses Lemisa

Added 12th March 2019

Ab'e Nammere balaze obutali bumativu ku atwala eby'okwerinda mu kitundu

Deb2 703x422

ABAKULEMBEZE b’ekyalo kye Nammere  balaze obutali bumativu ku   atwala poliisi  y’omukitundu kyabwe nga bagamba emirimu gy'akola tegitukiridde.

Charles Kyobe ssentebe w’ekitundu  n'akakiiko ke baawandikidde  DPC we Kawempe  ebbaluwa ne bamulaga obutali bumativu eri omusirikale we  Dickens Tar atwala poliisi  ye Nammere  gwe bagamba nti bamukooye mu kitundu olw’ebikolwa bye ebitalina gye bitwala kitundu kyabwe okujjako okukizza emabega mu nsonga ezenjawulo okuli ey’eby’okwerinda ne ndala .

Kyobe yategeezezza nti Oc amaze mu kitundu emyaka 4  ng’obuzibu obuli kati yagaana okukolagana n’abakulembeze ba LC ng’era bbo abatwala ng’abali tali bakulembeze , yagasseko nti omwezi oguwedde baawandiikira DPC nga balaga obutali bumativu ku nkola y’omusirikale we ne bamuwa tulansifa okugenda e Maganjo  ng’eyali e Maganjo  ne bamutwala e Nammere gye yamala olunaku lumu ne bakomyawo Tar 

Stephen Kazibwe omu ku batuuze yategeezezza nti  baludde nga bemulugunya ku nkola y’emirimu  gya OC  Tar gwe yagambye nti mu kisooka  yali mulungi  ng’abatuuze bamwagala  gye bifundikiridde  ng’ataddewo oluwonko  wakati wa bakulembeze ba LC ne Poliisi saako n’abatuuze ng’okutaasa embeera abakame balina kumukyusa bamutwale agende akolereko mu bitundu ebirala .

John Balibumpe akulira eby’okwerinda  ku kyalo yategeezezza nti poliisi ebafuukidde ekizibu n’emisango gy’ababbi be nkoko yegikolako  ssaako n’okukwata  n’abasiba emiguwa n’abakuba ng’okubayimbula bamala kusasula ssente okuva 30,000/ , yagasseeko nti  Tar bwe baamala okumukyusa ate nakomawo yakuba olukiiko n’ekigendererwa ky’okulaga mukama we nti ekyalo kikyamwagala ng’era abatuuze abasinga baaluzira saako n’akakiiko ka LC tewali yalulimu.

Eddie Ssegirinya omu ku baakwatibwa poliisi ne mukuba yategeezezza nti mu January w’omwaka guno abasirikale abaali bakulembeddwamu Oc baagenda ku kifo kye we bazannyira Ludo ku ssaawa biri ez’ekiro ne bakimenyamenya oluvannyuma abaali bonna ne babasiba ku miguwa ne batwala ku poliisi ne babagalira ng’okuvaayo buli omu yasasula 30,000/

RPC AYOGEDDE

Nganizi atwala poliisi mu mambuuka ga Kampala yategeezezza  Bukedde ku ssimu  nti waliwo abatuuze abaagamba nti oc tebamulinako buzibu nasuubizza abatuuze nga bwagenda okukola ku nsonga eno era agenda kugikolako

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be