TOP

Gav't egenda kukyusa etteeka ly'ebyamasanyalaze

By Muwanga Kakooza

Added 12th March 2019

Gav't egenda kukyusa etteeka ly'ebyamasanyalaze

Off1 703x422

Ofwono Opondo

GAVUMENTI ekirizza okulongoosa mu tteeka ly’ebyamasanyalaze eryayisibwa mu 1999 kiyambe okwongera  ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amasanyalaze mu ggwanga ekya ‘Electricity Regulatory Authority’ obuvunaanyizibwa n’ensimbi.

Bino byatuukiddwa mu lukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande. Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo yategeezezza mu kiwandiiko nti  ekitongole kino kigenda kukirizibwa okutandika okukozesa ensimbi ze kibadde  kikung’anya mu makkampuni n’abantu be kikolera emirimu.

Era kigenda kukirizibwa okussaawo akakiiko akagenda okukikiyamba mu kukola emirimuy gyakyo.Ekitongole era kigenda kukola emirimu gy’okunoonyereza era n’okugereka layisinsi z’amakkampuni agabunyisa amasanyalaze mu ggwanga.

Olukiiko lwa baminisita era lwategezeddwa nti Uganda egenda kutuuza  olukung’ana lw’ensi yonna olukwata ku by’ensoma y’ekikulu  olwa ‘Adult Literacy Learners and Tutors conference’ olw’okubaawo mu November 2019.

Ekimu ku bigendererwa mulimu okumanya omugaso gw’emisomo gy’ekikulu, okwongera okukunga abantu okujjumbira emisomo gy’ekikulu, wamu n’okwongera mu amaanyi gavumenti n’abalala abavunaanyizibwa be gassa mu by’emisomo gy’ekikulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam