TOP

Batongozza enkola

By Scovia Babirye

Added 12th March 2019

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwettanira okutereka basobole okweyagalira mu biseera byabwe eby’obukadde.

Liaison3 703x422

Okuva ku ddyo ye Martin Anthony Nsubuga akulira Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority n'abakungu ba Liaison mu kutongoza enkola ya manvuuli eno ku woteeri ya Serena ku Lwokubiri.

Bwabadde atongoza enkola ya Liaison Umbrella Fund abakola mu kuterekera abantu ssente, akulira Uganda Retirement Benefits Regulatory Authority Martin Anthony Nsubuga akubirizza abantu okweyunira okutereka ssente olwo lwebanaasobola okweyagalira mu bukadde bwabwe.

Ayongeddeko nti Bannayuganda bangi bwe batuuka mu bukadde baabwe tebabweyagaliramu olwokuba nga tebatereka ssente zibayamba nebadda mu kusabiriza ekitali kirungi.

Ate akulira ekitongole kino Isaac Mpaire, agambye nti enkola eno egendereddwamu kuyamba bannayuganda kwekulaakulanya kuba okuterekayo kutandikira ku 30% buli mwezi era ssente omuntu atandika okuzifuna okutandikira ku myaka 30 so omuntu w’atuukira okuva mu kukola aba alinawo ebintu mwatandikira okujja ssente ate n’asigala ng’afuna ezimubezaawo.

Ayongeddeko nti abantu abasing ssente z’akasiimo bazikozesa bubi naye bwebaneyuna enkola eno n’akasiimo bwekaggwaawo era babeera basobola okusigala nga balina webatandikira kasita banyigira mu nkola eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....