TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine asabye Besigye amulekere Museveni mu 2021 zaabike emipiira

Bobi Wine asabye Besigye amulekere Museveni mu 2021 zaabike emipiira

By Kizito Musoke

Added 12th March 2019

NGA gwe mulundi gwe ogusoose okukyatula, Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine’ asabye Dr. Kizza Besigye amudde emabega mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2021, kuba emirundi ena gy’avuganyizza alemeddwa.

Politicsug 703x422

Kyokka n’aba FDC bamwanukudde nti bw’aba ayagala obuwagizi bwabwe abawandiikire mu butongole oba okugenda ku kitebe kyabwe babyogereko.

Kyagulanyi yasinzidde ku mukolo gw’omubaka wa Mityana munisipaali, Francis Zaake ogwabadde mu maka ge e Buswabulongo ogw’okwebaza Katonda okumuwonya ekkomera n’ebizibu ebirala by’ayiseemu.

Bobi Wine yagambye nti Besigye mukwano gwe ng’omuntu era amuwa ekitiibwa n’abakulembeze abalala nga Betty Nambooze (Mukono Munisipaali). Kyokka ekiseera ky’amaze mu byobufuzi akizudde ng’alina kukkiririza mu bikolwa by’omuntu okusinga by’ayogera.

Embeera eriwo yagambye nti aba FDC balowooza nti tewali asobola kuwangula Museveni ng’ayise mu kalulu n’abawa amagezi obutamala budde bamuwagire asobole okutuukiriza ekyabalema.

“FDC etuwe omukisa ffe abalowooza nti tusobola okuwangula Museveni n’akalulu.

Mu bulamu bw’oba oyagala okufuna ky’otofunangako olina kukola ky’otakolangako. Kye muba mukola mwewandiise kuba omusajja mmwesobolera.”

Yasoomoozezza bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya nti bwe banaalemwa okwegatta okusimbawo omu ku bwapulezidenti kyakakasa nti bo abalonzi bajja kwegatta balonde omuntu omu.

Yawadde ekyokulabirako nti baasobola okutuuka ku buwanguzi e Bugiri, Arua ne Kyaddondo East nga tebeegasse.

Kyokka ne gye beegatta nga e Rukungiri ne Jinja East era baawangula. Abantu abazze bamuyeeya nga bw’atategeera byanfuna bya ggwanga yabaanukudde n’agamba nti;

“Ekikulu kya kubeera na maneja mulungi, kuba bwe mbeera ne Muwanga Kivumbi amanyi ebyenfuna, ne mbeera ne Seggonna nga yeegattiddwako Basalirwa eby’amateeka bitambula.

Ekikulu kya kuteeka bantu batuufu mu bifo ebituufu.” Yakiggumizza nti taliiwo lwa kuba y’asinga okutegeera, si lwakuba nti Uganda terina bakenkufu, kyokka asazeewo okwesimbawo olw’okuba abasajja n’abakazi b’awa ekitiibwa n’abalonzi bamutaddemu obwesige.

FDC ESABYE BOBI AGENDE E NAJJANANKUMBI

Harold Kaija, amyuka Ssaabawandiisi wa FDC yagambye nti Bobi Wine bw’abea ng’awulira nti yandyetaaze obuwagizi bwabwe alina kubawandiikira oba okujja ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi ne boogeranya.

Mu kiseera kino yagambye nti tebalina kye bayinza kwanukula naddala engeri gye bataabadde ku mukolo gwe yayogeredde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu

Uhurukenyatta 220x290

Coronavirus: Kenyatta asaze omusolo...

Pulezidenti wa Kenya, Uhuru Kenyatta alangiridde nga bw’asaze emisolo mu kaweefube w’okuyamba Bannakenya mu mbeera...

1175942533jpg0 220x290

Coronavirus: Amerika ewadde bannansi...

AMERIKA ewadde bannansi baayo bamufunampola buli omu ddoola 1,200/-, ze ssente eza Uganda obukadde 4 n’ekitundu...