TOP

Luba ow’ettaka bamutemye

By Ponsiano Nsimbi

Added 12th March 2019

Luba ow’ettaka bamutemye

Nku2 703x422

Ekizimbe kya Luba ekisangibwa e Mpererwe ku lw’e Gayaza.

NNANNYINI kkampuni egula n’okutunda ettaka, eya Luba Properties asimattuse okuttibwa omutuuze eyamutemye ebiso ng’agenze okulambuza abaguzi ettaka. Moses Lubuulwa gwe baakazaako erinnya lya kkampuni ye eya Luba Properties, obuzibu yabufunidde ku kyalo Jjanda mu ggombolola y’e Ziroobwe mu Luweero, ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Lubuulwa aludde ng’agugulana n’abatuuze ku kyalo ekyo abali ku ttaka ly’agamba nti yaligula, kyokka abatuuze nga bakiwakanya era nga bawera nkolokooto obutava ku bibanja byabwe kuba baabifuna mu butuufu.

Ku Lwokutaano, Lubuulwa yatutte abaguzi abalambuze ekibanja kya Ronald Mubiru ekiwezaako yiika nnya. Olwatuuse mu maka ga Mubiru, yagenze butereevu n’atandika okulambuza abantu basatu be yazze nabo.

Kino kyatabudde mutabani wa Mubiru ayitibwa Moses Galiwango eyamubuuzizza ky’akola mu kibanja kyabwe. Mu bukambwe Mubiru yalumbye Lubuulwa n’ejjambiya n’amutema ekiso ku mutwe, naddamu n’amutema emikono, Lubuulwa amaanyi ne gamuggwaamu n’agwa wansi.

Mu kiseera kino Lubuulwa abantu be yazze nabo bwe baalabye agudde wansi, kwe kumwanguyira ne bamuyoolayoola ne bamussa mu mmotoka mwe bajjidde ne bamutwala ng’ali mu mbeera mbi.

Oluvannyuma kyategeerekese nti yatwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya. Kyokka kyategeerekesenti n’e Nsambya yavuddeyo naye ng’akyali ku bujjanjabi. Bino byonna okubaawo, nnyinimu Mubiru teyabadde waka kyokka abatuuze bwe baawulidde akavuvuhhano kwe kujja balabe ekiguddewo.

Mu kiseera kino poliisi we yatuukidde n’ekwata Galiwango ne nnyina Rose Namatovu abaasangiddwa awaka.

NNANNYINI KIBANJA ANNYONNYODDE

Oluvannyuma nnannyini kibanja, Mubiru yannyonnyodde nti ekibanja ekyo akibaddeko okuva mu 1990. Ayongerako nti ye amanyi nti ettaka lya mugenzi Asuman Kiyaga era ye aliriko nga waakibanja.

Agamba nti azze agula mpola okutuusa kati ekibanja kye lwe kiwezezza yiika nnya.Mu 2010, agamba nti abaana b’omugenzi Kiyaga okuli Ismail Kalevu ne Sula Mubiru baamutuukirira yeegule kyokka n’abategeeza nti teralina ssente mu kiseera ekyo.

Mu 2015 waavaayo omwana wa Kiyaga omulala ayitibwa Rehema Nassolo eyamutuukirira naye n’amulagira okwegula kyokka era ne batamaliriza.

Mu 2017, waavaayo mutabani wa Kityaga omulala ayitibwa Hussein Kato eyamutegeeza nti ekibanja ekyo kikye era yali akiguzizza Moses Lubuulwa owa Luba Properties kwe kutandika okubayigganya n’okutuusa kati .

Omwaka oguwedde, Lubuulwa yatwala ttulakita ku kyalo okugezaako okubasenda kyokka abatuuze ne bamulemesa era ensonga baazitwala ku LC3 eyalagira Lubuulwa aleete ebbaluwa eva mu ofiisi y’ebyettaka e Bukalasa kyokka teyagireeta.

Kyokka ssentebe wa LC1, Hamed Ssemanda agamba nti Lubuulwa yamulaga ku bbaluwa emuwa olukusa okwerula empenda z’ettaka era yayita Mubiru n’amukwataganya ne Lubuulwa kyokka ebyo byabadde bikyali awo, we yawuliridde bino ebyabaddewo.

Wabula Lubuulwa nnannyini kkampuni ya Luba Properties bwe yatuukiriddwa ku nsonga y’okutemebwa ng’agenze ku ttaka lye Jjanda - Ziroobwe yategeezezza nga bw’atali mu mbeera nnungi noolwekyo tasobola kwogera n’asaba bamuweemu ku budde asooke atereere olwo ayogere ku nsonga zino.

Waliwo n’omukyala eyategeezezza Bukedde nga ye bw’atasobola kwogera ku nsonga zino nga ye kennyini Lubuulwa eyaguddeko obuzibu buno y’alina okubyogerako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.