TOP

Abazigu balumbye amaka ga ssentebe e Kabuusu

By Vivien Nakitende

Added 12th March 2019

Abazigu balumbye amaka ga ssentebe e Kabuusu

Tip1 703x422

Sentebe ng'alaga amaka ge agaalumbiddwa abazibu

Abazigu abatanategeerekeka balumbye ssentebe wa zooni ya Kabuusu e Lubaga, ne bakoonakooona ennyumba ye endabirwamu zonna bazirese ku ttaka.
 
Abazigu abagambibwa okujjira mu mmotoka ya Takisi, babalumbye ssentebe wa zooni ya Kabuusu e Lubaga, Bernard Mugerwa nebakoonaakoona ennyumba ye nga bamulagira okuggulawo.
 
Mugerwa agamba, zaabadde ssaawa nga mwenda ez'ekiro, nebawulira emmotoka esimba okumpi n'awaka ekyaddiridde kuwulira bantu nga bakoona ennyuba ye nga bamulagira okuggulawo, abaabadde mu nnyumba nebatandika okulaya enduulu ssaako ne baliraanwa nabo abaabadde balumbiddwa nebakomerera enduulu ey'amaanyi eyabakanze nebadduka.
 
Mu kudduka, baagenze bawera nga bwebagenda okukomawo nti kubanga tebinnaggwa, endabirwamu mu nnyumba ya ssentebe ne muliranwa we Prossy Namuddu zonna baalese baziyiye ku ttaka.agamba;

Twalingizza netulaba ng'abazigu bano beepanga mu mmotoka ekika kya takisi, kyokka tetwagitegedde nnamba, ate yo mu nnyumba ya Namuddu baabadde batandise okugisima nga bagireeseemu ekituli, nga bakozese ennyondo.

"Ssimanyi kyandintuuseeko singa bagguddewo nebansanga munda, ndowooza singa kati ndi mufu" Ssentebe Mugerwa bw'agamba.
 
Agamba obuzibu obwamutuusizza ku kino bwandiba nga bwavuddebku bbaluwa gyeyawandiikidde omu ku batuuze be okugenda okwekubira enduulu waggulu ku nsonga z'enkaayana z'ettaka lyebakaayanira ab'oluganda, ekyanyiizizza abakaayana nti kubanga olwagiwandiise ekiro nebamulumba.
 
Alaajanidde poliisi emuwe obukuumi kuba ali mu kweraliikirira, abatuuze bazze okulaba ekibadde ku ssentebe waabwe nebasaba poliisi y'e Lubaga okukomyawo emmotoka erawuna ekyalo gyebagamba nti yali egobye abamenyi b'amateeka, nti  naye okuva lweyaggyibwawo obumenyi bw'amateeka bweyongera mu kitundu.
 
Mugerwa yagguddewo omusango gw'okumulumba n'okwonoona ebintu bye ku poliisi e Lubaga ku fayiro SD; 03/09/03/2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...