TOP

Zaake yeebazizza Katonda

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

Zaake yeebazizza Katonda olw’okumuyisa mu bizibu ebyenjawulo omuli okutulugunyizibwa n’atuuka n’okugenda mu kkoma n’okuva mu kkomera. Kyokka yaweze nti byonna ebimutuuseeko bimwongedde maanyi na buvumu.

Said 703x422

Zaake ng’agabula abantu keeki. Asooka ku kkono; Patrick Nsamba, Kyagulanyi, ne Bridget Mirembe muka Zaake.

“Ndi mwetegefu okwongera okusibwa ne bwe ginaabeera emyaka emirala 10, kyokka nga sibaliddeemu lukwe mmwe abalonzi bange.

Nga Obama omuddugavu ne Trump omusuubuzi bwe baafuga America nga tebasuubirwa, mbakakasa nti Bobi Wine agenda okuba Pulezidenti wa Uganda addako.” Zaake bwe yagambye.

Omukolo gwetabyeko abantu bangi ng’ekitambiro kya Mmisa kyakulembeddwa Fr. Steven Lusiba owa Kiyinda Mityana eyasabidde Zaake n’amugamba abeere n’essuubi nti olunaku lulituuka n’atuuka mu nsi endagaanye n’ayambala engule.

Kalabaalaba w’omukolo, Muwanga Kivumbi (Butambala) yagumizza abawagizi ba People Power nga bwe basensedde era nga balina obukodyo bungi bwe batasobola kwanja mu kiseera kino.

Abalala abeetabye ku mukolo kwabaddeko; Allan Sewanyana (Makindye West), Emmanuel Kigozi Sempala (Makindye Ssabagabo), Gonzaga Sewungu (Kalungu West), James Acidiri (Maracha East), Kassiano East (Arua Munisipaali), Patrick Nsamba (Kassanda North), David Lukyamuzi Kalwanga (Busujju), Medard Seggona (Busiro East) ne Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya) , John Baptist Nambeshe (Manjiya) ne bannabyabufuzi abalala bangi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....