TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA egenda kuwandiisa abatembeeyi bonna mu Kampala - Minisita Kamya

KCCA egenda kuwandiisa abatembeeyi bonna mu Kampala - Minisita Kamya

By peter ssaava

Added 12th March 2019

MINISITA wa Kampala Beti Kamya asabye ekitongole kya KCCA okwetegereza mu mateeka agafuga ekibuga oba nga gayinza okukkirizisa abatembeeyi layisinsi okukola emirimu nga tebabataataaganya.

Gulawo 703x422

Minisita Kamya (owookusatu okuva ku kkono) Rev. Muwonge, omugagga Ntake n'abalala oluvannyuma lw'okusaba.

Beti Kamya yategeezezza nti abatembeeyi mu kibuga bayitamu buyisi tebalina kifo kya nkalakkalira we bakolera n'agamba nti singa KCCA ebaddiramu tewali muserikale agenda kubakwata.

“Tugenda kulaba ng'abayita obuyisi mu kibuga baweebwa layisinsi mu kibuga olwo bakole nga tebalina bizibu naye oyo ateewandiise ate n'asigala ng’ajja mu kibuga n’emmaali ye tujja kumukwata olw’ensonga nti ajja kuba talina lukusa lumukkiriza kutundira mu kibuga", minisita Kamya bwe yayongeddeko.

Yagambye nti, abasuubuzi abalala abatundira ku miryango gy’amaduuka ne ppaaka tebagenda kukkirizibwa kukolera mu kibuga.

Bino yabyogeredde mu kusaba ku kkanisa ya Martyr’s Church Katwe ku mukolo gw'okusonda ssente ez’okuzimba ekizimbe ky’ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu Bulabirizi bw'e Namirembe .

Mu kusaba kuno akulira ekitongole ekibuulizi ky'enjiri mu Bulabirizi bwe Namirembe Rev. Samuel Muwonge yasabye Abakristaayo obutawa sitaani bbanga naddala mu kiseera kino nga bali mu kisiibo.

Yategezezza nti ng’Obulabirizi bwasalawo buli mwaka ne buteekawo wiiki Abakristaayo mwe basondera ssente ez’okuzimba ekizimbe kya Mission House.

Ssente ezisoba mu bukadde 200 ze zaasondeddwa ku bbiriyoni omusanvu ezeetagisa okukimaliriza nga kya myaliiro musanvu era nga kisuubirwa okuggwa mu myaka esatu okuva kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...