TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Faamu ya Museveni ekyusizza obulamu bw'abantu b'e Busoga

Faamu ya Museveni ekyusizza obulamu bw'abantu b'e Busoga

By Moses Nsubuga

Added 13th March 2019

Faamu eno yakola kinene okuzibula amaaso g’abantu b’e Busoga ababade balima ebikajjo mwe batasobola kuggya ssente zimala kyokka mu birime ng’amatooke, emicungwa basobola okuggyamu ssente ezeegasa.

Webnkokom 703x422

Aisha Kitimbo ng'alonda amaggi mu faamu.

“BWE nnaguza Pulezidenti Museveni ettaka kwe yassa faamu, kyansanyusa kubanga  nnali neesunga aba famire yange okufuna emirimu. Kyokka gye biggweeredde nga bayize ennima ey’omulembe evaamu ssente ezibayambye okweggya mu bwavu kubanga ebikajjo bye baali balima buli ttaani bagifunangamu 130,000/- zokka,” Yusuf Kasaada eyali nnannyini ttaka okuli faamu ya Pulezidenti bwe yategeezezza.

Kisaada tali yekka wabula abantu bangi abava mu kitundu kye Busoga omuli; Jinja, Kamuli, Iganga, Mayuge, Bugiri, Namutumba ne Busia baganyuddwa mu faamu eno n’ebayamba okukyusa obulamu bwabwe. 

Basomeseddwa ennima ey’omulembe n’okubalaga ebibala bye balina okusimba ebiriko ssente ne basobola okuterekako kye baali batasobola kukola mu kusooka.

Faamu eno esangibwa Kityerera mu disitulikiti y’e Mayuge ng’eyitibwa Mayuge ‘Presidential Demonstration Farm’. Eri  ku ttaka lya yiika 22, nga kuliko, amatooke, ennaanaasi, obutiko, emmwaanyi, emicungwa, obutunda, n’emiyembe.

Balundirako  enkoko, ente nga basimbako n’ebisagaazi.

 harles iwuuwa  wakati nabantu abaabadde balambula olusuku Charles Kiwuuwa ( wakati) n'abantu abaabadde balambula olusuku

 

Bye bafunye mu faamu

Charles Lubaandi omulimisa akolera ku ggombolola y’e Kityerera agamba nti; edda ebibala n’emmere  baabisubulanga Bugerere, Jinja n’ebifo ebirala nga bitundibwa ku buseere. Wabula kati abantu babyerimira ne bituuka ku katale nga bikyali birungi ate ne bitundibwa ku bbeeyi eya wansiko.             

Ayongerako nti faamu eno yakola kinene okuzibula amaaso g’abantu b’e Busoga ababade balima ebikajjo mwe batasobola kuggya ssente zimala kyokka mu birime ng’amatooke, emicungwa basobola okuggyamu ssente ezeegasa. 

Charles Kiwuuwa omuyambi wa Pulezidenti ku nsonga z’obulimi agamba nti ennima ey’omulembe ku faamu eno esikirizza  abantu bangi ne bagendaayo okufuna ekyokuyiga.

 hristiano manjong ngalaga ennaanansi Christiano Omanjong ng'alaga ennaanansi.

 

“Olw’ebitundu ebisinga okuba nga bya nsozi na ntobazzi abantu bangi babadde tebeenyigidde mu nnima ekola amagoba okutuusa lwe basomweseddwa engeri y’okubikkamu ettaka, okusima ensalosalo, okutabika ebirime n’okubikyusa buli makungula ebiyamba okukuuma amazzi mu ttaka n’okulitangira okuggwaamu amangu obugimu”,  Kiwuwa bwe yagambye.

Tadius Musumba omusawo w’ebisolo ku ggombolola agamba nti abalambudde faamu eno bangi tebasigadde kye kimu oluvannyuma lw’okufuna amagezi okuva mu bakugu, endokwa n’ensigo ezoobwerere n’okuyiga okwetegekera  embeera z’obudde omuli enkuba  n’omusaana  omungi. Bino bikoze kinene okukyusa obulamu n’ennyingiza y’abantu b’omu bitundu bino. Nga n’abantu abeeyunira faamu zino beeyongera buli olukya.            

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA