TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muka Mbuga kkooti egobye okusaba kwe okwokweyimirirwa

Muka Mbuga kkooti egobye okusaba kwe okwokweyimirirwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

OMULAMUZI wa kkooti y’abalyake, Margret Tibulya agaanye Angelal Chebet, muka SK Mbuga okumweyimirirwa n'agamba nti ayinza okudduka mu Uganda nga bwe yakola mu ggwanga lya Sweden.

Angel2 703x422

Angella Chebet ng'ali mu kkooti.

BYA ALICE NAMUTEBI

Chebet abadde ayagala kkooti emweyimirire ave mu kkomera e Luzira naye omulamuzi agambye nti tasobola kumwesiga nti anaakomawo mu kkooti kubanga n’okutuusa kati tekimanyikiddwa ngeri gye yaddukamu mu Sweden gye yali avunaanibwa n'akomawo mu Uganda .

Ensala y’omulamuzi Tibulya asomeddwa mulamuzi munne Pamela Lamunu n'agamba nti n’abantu abataano okuli kitaawe omuto Ismail Lwanga  omulimi, muganda we Sarah Kaweesa omutunzi w’engoye n’ebyokwewunda n’abalala emirimu gye bakola tegirina busobozi busasula muwendo gwa ssente munene singa Chebet abeera adduse mu ggwanga.

Omulamuzi alagidde Chebet azzibwe mu kkomera e Luzira . Chebet abadde mu kkomera okuva nga February 27, 2019 ku misango gy’okutambuza ssente mu ngeri enkyamu n’okuggya obukadde 400 mu ngeri ey’olukujjukujju okuva kw'eyali bba Omuzungu Stein Heinsoo.

Chebet akomawo mu kkooti nga March 27, 2019

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’