TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Meeya w'e Nansana abakunze okwekwata akatabo ka Bukedde

Meeya w'e Nansana abakunze okwekwata akatabo ka Bukedde

By peter ssaava

Added 13th March 2019

Meeya w'e Nansana abakunze okwekwata akatabo ka Bukedde

Jip2 703x422

Meeya Bakitte ate wansi ze ofiisi za Munisipaali.

MEEYA wa Munisipaali y'e Nansana, Regina Bakitte akunze abatuuze mu Munisipaali eno okujjumbira akatabo aka Bukedde ak’enjawulo akagenda okubaamu ebikwata ku Munisipaali gy’akulembera ne disitulikiti ya Wakiso.

Akatabo kano kaakufulumizibwa nga March 28, 2019, nga kalaga enkulaakulata etuukiddwaako mu Wakiso, emikisa egirimu okukola ssente n'ebikyasoomooza ekitundu kino.

Meeya Bakitte kye yavudde akunga naddala abatuuze b’omu Munisipaali y’e Nansana naddala abaliko emirimu gy’obusuubuzi gye bakolera mu kitundu kino bakozese omukisa guno okulanga emirimu gye bakola abantu bagimanye.

Yagambye nti ateeseteese obubaka mu katabo kano ku bikwata ku Munisipaali gy'akulembera okulaga gye bavudde, we bali ne gye balaga naddala ng’essira alissa ku by'ateeseteese okukola okusobola okutumbula ekitundu kino.

Meeya Bakitte yagambye nti Nansana kye kimu ku bitundu ebikulaakulana ku sipiidi eya yiriyiri era abantu bangi batandise emirimu egiyamba ekitundu ng’amasomero, obukolero obutonotono nga bannannyini bizinensi zino zonna yabawadde amagezi beegatte ku Bukedde balange ebintu byabwe basobole okubirinnyisa eddaala eriddako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600