TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ensogasoga okugoba envi

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ensogasoga okugoba envi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ensogasoga okugoba envi

Nso2 703x422

Ensogasoga bwefaanana

WIIKI ewedde nakulaze emigaso egy’enjawulo egy’ensogasoga naddala ku bulamu. Leero ka nyongere okukulaga engeri gy’oyinza okuzikolamu ssente ng’oyiiyaamu ebintu eby’enjawulo.

Sirowooza nti waliwo eyali alabye ku kinyonyi ekiyitibwa ejjuba ekitalina byoya, era bw’okongola ejjuba ebyoya byanguwa okumera, so ssinga okongola eby’enkoko ate mwattu byo bijja kulwawo okuddamu okumera. Okwo okunoonyereza nakukoka era ne nkukakasa.

Kino kiri bwekityo kubanga amayuba galya ensogasoga ate enkoko zo tezigalya. Sigamba nti naawe akutuka enviiri oba alina ekiwalaata ogende otandike okuzirya enviiri zimere, wabula ate ggwe tukugattiddeko omutindo ozifunemu emigaso nga tomenyese.

 utto akamuddwa mu nsogasoga Butto akamuddwa mu nsogasoga

Wano osobola okukozesa ensogasoga n’okamulamu butto, wabula olina okuba ng’ozisiikidde ddala ne ziba ng’ezisiriira oluvannyuma n’olyoka ozikamulamu butto.  Ono osobola okumugattamu akagiiko ka bbiya n’osiiga mu nviiri.

Butto aziyamba obutakutuka era Abalasita e Jamaica bazikozesa mu kukuza enviiri.  Butto takoma ku nviiri zokka, wabula ku muntu alina enkyakya n’abawunya ebigere butto w’ensogasoga kasita omukozesa akuyamba obutabifuna.

Abajamaica bwe baakizuula nti buli lwe bakuza enviiri zifuna envi ne batandika okuzisiigamu butto w’ensogasoga. Osobola okumugatta ne bbiya oba amagi n’osiigamu, takola nga ddaayi, wabula aliikiriza enviiri envi ne zigenda. Omuntu nga tannaweza myaka 65, envi bubeera bulwadde era ensogasoga esobola okukuvumula.

 Ku bakyala n’abaami abalina mugaba era ekuyamba okumubuza.

Ku bantu abavuga mmotoka, butto w’ensogasoga ayamba okugumya olukoba lwa yingini bw’omusiigako. Asobola n’okugumya enkoba ezisiba 16 Bukedde Lwakusatu March 13, 2019 Emboozi z’omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch Butto w’ensogasoga agoba envi ebintu abalina eggaali ne pikipiki ze batera okukozesa.

Ggwe alina ensawo ezirina eddiba erya ‘leza’, osobola okuteeka butto w’ensogasoga ku nsawo zino ajja kuzikuuma nga nnamu okumala ebbanga ddene kuba ne bweyakako omusana temala gafa.

 mutwe ogwekiwalaata Omutwe ogw’ekiwalaata

Ggwe alina amanda, ssinga oteekamu ku nsogasoga ojja kukozesa amanda matono kubanga gaaka nnyo. Ate bano abagakola okuva mu kasasiro gajja kwaka bulungi ssinga oba wamutabulamu.

Omuntu alina akawoowo ng’oyagala okukeekuba kakusigaleko olunaku lulamba, sooka okatabulemu butto w’ensogasoga n’oluvannyuma weesiige.

Abantu abatayagala kukaddiwa basobola okukozesa ensogasoga, butto waazo akuuma olususu ne lutafuna mangu nkanyanya.

Abantu abakola ebizigo basaanye okutabulamu butto w’ensogasoga, ku baana abalina ebiguuna n’okwetakula ajja kubayamba. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....