TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaakwatibwa ku gw'okutta Kirumira beemulugunya olw'okutulugunyizibwa okususse

Abaakwatibwa ku gw'okutta Kirumira beemulugunya olw'okutulugunyizibwa okususse

By Eria Luyimbazi

Added 13th March 2019

Okunoonyereza mu musango gw'okutta Kirumira kuwedde omu ku baakwatibwa yeemulugunyizza ku by'okumutulugunya

Mwebe6web 703x422

Mwebe ng’alaga enkovu ku bukokola z’agamba nti zaava mu kutulugunyizibwa abasirikale abaamukwata . Mu ddyo ye Kalungi.

Bya Eria Luyimbazi 

ne Steven Kiragga

 

 

OMUSAJJA owookubiri eyakwatibwa ku by’okutta omusirikale wa poliisi, Muhammad Kirumira n’omukazi Resty Nalinnya Mbabazi, Hamza Mwebe akukkulumye olw’ebitongole byokwerinda ebyamukwata ne bimutulugunya n’afuna ebisago.

 Bwe yabadde aleeteddwa ku kkooti ewa Wakiso okuddamu okuwulira omusango ogubavunaanibwa ne munne Abubaker Kalungi,  Mwebe yagambye nti abajaasi n’ekitongole kya CMI abaamukwata baamutulugunya bya nsusso n’afuna amabwa mu  bitundu eby’enjawulo  ku mubiri.

“Nakosebwa ekisusse abasajja abankwata bantulugunya era kati ndi mu bulumi obutagambika, sisobola kusitama nga n’emisango gye banvunaana sigimwanyi,” Mwebe bwe yategeezezza.

Okukakasa Mwebe bye yabadde ayogera ku ky’okumutulugunya yasitudde ekkanzu ye n’alaga nkovu z’amabwa ku maviizi ne ku bigere ssaako n’okulaga obukokola nga bwonna buliko enkovu nga zonna agamba zaamutuusibwako abaserikale abaamukwata.

Ensonga eno ne munne Kalungi gye yeemulugunyaako. 

Omulamuzi Hillary Kirya, ye yasooka okuwulira omusango guno n’awa ekiragiro aweebwe obujjanjabi mu kkomera e Kigo.

Nga baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Noah Ssajjabi omuwaabi wa gavumenti,  Ameria Kamushabe yetegeezezza nti okunoonyereza mu musango oguvunaanibwa Kalungi ne Mwebe  g’owokutta Kirumira ne Nalinnya bwe kufundikiddwa nga beetegefu okugenda mu maaso n’omusango.

“Oweekitiibwa Omulamuzi okunoonyereza mu musango gw’okutta Kirumira kuwedde era nsaba bampeeyo olunaku olulala basobole okubasindika mu kkooti enkulu beewozeeko,”  Kamushabe bwe yategeezezza.

Omulamuzi Ssajjabi yayongeddeyo omusango okutuusa nga March 27, 2019 nga Kalungi ne Mwebe lwe basuubirwa okusindikibwa mu kkooti enkulu okusobola okutandika okwewoozaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...

Rab 220x290

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe...

Omuyizi awanuse ku muti gw'omuyembe n'akosebwa mu bwongo

Hap2 220x290

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka...

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

Rip2 220x290

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola...

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola kazambi

Mab2 220x290

Male Mabirizi atutte Gavumenti...

Male Mabirizi atutte Gavumenti mu kkooti