TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti y’ekyalo ekendeezezza emisango egigenda mu kkooti y’amateeka e Buwama

Kkooti y’ekyalo ekendeezezza emisango egigenda mu kkooti y’amateeka e Buwama

By Paddy Bukenya

Added 13th March 2019

Matovu agambye nti ekigendererwa kya kkooti y’ekyalo kugatta bantu n’okumalawo entalo naddala mu bantu ab’omuliraano n’okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka mu kitundu nga bawa abazzi b’emisango ebibonerezo eby’enjawulo naddala ebigasa ekitundu ng’okulima enguudo.

Ssentebematovumukootiyekyalongaasaliraomutuuzeomusangob 703x422

Ssentebe Matovu (ku kkono) ng'asalira omutuuze omusango mu kkooti y'ekyalo.

Ssentebe w’ekyalo Mbizzinnya mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi, Hussein Matovu ng’ali wamu n’akakiiko ke n’abatuuze batandise okutuula mu misango gy’abatuuze baabwe egy’enjawulo ekikendeezezza obungi bw’emisango egibadde gigenda mu kkooti ento ey’e Buwama.

Kkooti eno etuula omulundi gumu mu wiiki ku kitaawuluzi kya LC e Mbizzinnya era nga yeetabwamu abakulembeze b’ebyokwerinda okuli ne poliisi.

Ssentebe n’akakiiko ke basala omusango oluvannyuma lw’okwekenneenya obujulizi obuleeteddwa omuwaabi n’omuwawaabirwa era ng’emisango egisoba mu 19 gye gyakasalibwa abasingiddwa ne baweebwa ebibonerezo eby’enjawulo. 

Kuliko egy’obubbi, okulwana, egy’engassi n’emirala nga kino kikendeezezza ku bungi bw’emisango egibadde giyitiridde mu kkooti y’amateeka ento e Buwama.

Matovu agambye nti ekigendererwa kya kkooti y’ekyalo kugatta bantu n’okumalawo entalo naddala mu bantu ab’omuliraano n’okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka mu kitundu nga bawa abazzi b’emisango ebibonerezo eby’enjawulo naddala ebigasa ekitundu ng’okulima enguudo.

Akulira poliisi y’e Buwama, Gatabi Natumanya ategeezezza nti okuva kkooti y’ekyalo kino bwe yatandika omuwendo gw’abantu abawaaba ku poliisi y’e Buwama gukendedde naddala emisango nga egy’okulwana, enkaayana z’ebibanja n’ebirala n’asaba LC endala okukoppa ab’e Mbizzinnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...