TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi eyakuba amasasi mu bantu yeewozezzaako nti yali atabuse omutwe.

Omujaasi eyakuba amasasi mu bantu yeewozezzaako nti yali atabuse omutwe.

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Omujaasi Col. Bingi eyakuba amasasi mu bantu n'akasuka emmundu okuliraana poliisi y'e Gombe yeewozezzaako mu kkooti nti yali atabuse omuntwe kyokka ebbaluwa ezaava mu ddwaaliro ziraga nti teyaliiko buzibu bwonna era kino akyekwasa bamukendereze ku kibonerezo.

OMUJAAASI wa UPDF eyakuba abantu amasasi akkiriziddwa okwewozaako oluvannyuma lwa kkooti okumaliriza okuwulira obujulizi obw’abantu 14.
 
Omuwaabi wa Gavumenti, Mak Omondi yategeezezza kkooti nga Cpl. Bingi Thomas 35, omujaasi mu nkambi y’amagye e Bombo bwe yamala okukola obulumbaganyi ku bantu n’asuula emmundu okumpi ne poliisi y’e Gombe nga yaleka awandiise amannya ga Cpl. Denis Okello abuzeebuze abantu ne bakama be nti ssi ye yasse abantu. Ssentebe wa kkooti, Col Muhanguzi awadde Cpl Bingi obukwakkulizo busatu nga tannaba kwewozaako.  Akasooka nti, bw’oba oyagala okwewozaako olina okuleeta abajulizi abakuwolereza nti tolina musango.
 
Ekyokubiri, olina okwewozaako ng’oyogera amazima ng’olayidde oba okwogera amazima nga tolayidde kkooti egenda kuwuliliza obujulizi bwo.
Ekyokusatu, olina okusirika bw’oba okimanyi nti gukusinga.  Wano Cpl Bingi asazeewo okwewaako obujulizi nga talayidde era bino by’annyonnyodde.
 
“Nga October 13, 2018 nalabira awo nga ntabuse omutwe ne nfuna ekirowoozo ekigamba nti, hhende nfune emmundu era bwe nagifuna saamanya byaddirira wabula okuddamu okutegeera nga November 3, 2018 nga ndi mu nkambi y’amagye e Kakiri”.  Omuwaabi wa gavumenti, Mark Omondi yabuuzizza Bingi oba ajjukira ekyaliwo ku olwo olunaku n’addamu kimu nti, “sirina bye nzijukira era  simanyi kye nakola. 
 
Kino kyatabudde abatuuze abaabadde mu kkooti nga bagamba nti, by’ayogera yeewuunza bwewunza nti kati kkooti etandise kubabuzaabuza era Omondi n’asaba kkooti ekkirize basome ebbaluwa y’omusawo gye baamukebererako.
 
Ebbaluwa y’abasawo yaleeteddwa mu kkooti ng’esomeddwa Col. Dr. Patrick Ochenge okuva mu ddwaaliro lya UPDF erikola ku balwadde b’emitwe yalaze nti, Cpl Bingi tatabuka nga ku mutwe nga kino akikoze kwetaasa okulaba nga bamukendeereza ku kibonerezo. 
 
Kkooti yakuddamu okutuula ku Lwokuna.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira

Rat2 220x290

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola...

Mujje mu Bukedde mulange bye mukola - Minisita Seninde

Hit 220x290

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo...

Obadde okimanyi nti butto w'ebiryo awonya obwannabukalu mu bakyala ssaako n'amaanyi g'ekisajja ? Soma wano mu mboozi...