TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mzee akubye muganzi we waya ezimusaze lwa kumumma kaboozi

Mzee akubye muganzi we waya ezimusaze lwa kumumma kaboozi

By Moses Lemisa

Added 13th March 2019

Nuwarinjuna yategeezezza nti alina omusajja e Mpererwe ayitibwa Sanyu ng’abasajja abalala aba abayiiya buyiiya. Yagasseeko nti obuzibu bwa Nkuubi buli w’amulabirako aba ayagala kaboozi kyokka ng’ebiseera ebimu aba tali mu mbeera nnungi era ku luno ekyamututteyo kunaabako kuba yabadde agudde mu mwala.

Bafumbo 703x422

Nuwarinjuna (wakati) ng'alaga ebisambi ebiriko ebisago ebyamutuusiddwaakomuganzi we Nkuubi (ku kkono). Ku ddyo ye bba Ssanyu bwe bamaze mu bufumbo emyaka mukaaga.

MUZEEYI Sulaiman Nkuubi 60 ow’omu Dobbi zooni  mu muluka gwa Makerere III e Kawempe atabukidde muganzi we, Price Nuwarinjuna 27 n’amukuba kwagala kumutta lwa kugaana kumuwa kaboozi. Gye byaggweeredde ng’ensonga zitwaliddwa ku poliisi n’emuggulako omusango ku fayiro nnamba SD REF: 10/08/08/2019.

“Ebintu by’omukwano bizibu  Nuwarinjuna bwe namusabye okulinnya ekitanda yatandise kunvuma  nange ndi muntu nabadde mpulira sisobola kuguminkiriza obusungu ne mbumumalirako naye nsaba kisonyiwo ate ekirala yabadde atamidde nnyo kuba yasoose kugwa mu mwala,” Nkuubi bwe yategeezezza

Nuwarinjuna yategeezezza nti alina omusajja e Mpererwe ayitibwa Sanyu ng’abasajja abalala aba abayiiya buyiiya. Yagasseeko nti obuzibu bwa Nkuubi buli w’amulabirako aba ayagala kaboozi kyokka ng’ebiseera ebimu aba tali mu mbeera nnungi era ku luno ekyamututteyo kunaabako kuba yabadde agudde mu mwala. 

“Afande omusajja oyo mutemu laba bw’ankubye n’atuuka ne mu mbugo lwa kugaana kunyumya naye kaboozi, kikyamu  naye ate mpulira saagala mumusibe kasita afuna ssente ezinzijanjaba mumuyimbule naye yankubye nnyo,” Nuwarinjuna bwe yategeezezza

Robert Sanyu bba  wa  Nuwarinjuna olwawulidde  ebituuse ku mukyala we yasitukiddemu n’agenda ku poliisi y’oku Kaleerwe era bwe yamubuuzizza ekyabaddewo Nuwarinjuna yamugambye nti omusajja yamusanze mu kkubo n’amukuba wabula oluvannyuma abaserikale baamubuulidde ekituufu.

Sanyu yagambye nti bamaze ne Nuwarinjuna emyaka mukaaga mu bufumbo nga tebalina mwana. Yagasseeko nti ku ntandikwa ya February w’omwaka guno Nuwarinjuna yamutegeeza nga bw’ayagala okugendako mu ba famire ye ku Kaleerwe ng’abadde tamanyi nti alinayo abasajja abalala.

“Nze omukazi teyangamba nti agenze mu bufumbo yansibuula bulungi nti agenze mu baganda be ku Kaleerwe. Nze njagala Nkuubi ajjanjabe mukyala wange kuba nze simukyawangako laba bw’amukubye n’atuuka ne mu bitundu by’ekyama,”  Sanyu bwe yategeezezza.

Meddie Ssekate akulira eby’okwerinda mu Dbobbi zooni yategeezezza nti bba  wa Nuwarinjuna  gwe bamanyi ye Robert Sanyu abeera e Mpereerwe ng’avuga kagaali ka Bodaboda ku Kaleerwe ng’eno yavaayo n’afumbako ew’omuvubuka gwe bamanyiiko erya Sendi ow’omu Dobbi.  Yagasseeko nti Nuwarinjuna mu zooni yeemu yafunayo  Muzeeyi Nkuubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hap2 220x290

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka...

Mayanja Mbabali asekeredde abavubuka abali mu kulera engalo

Rip2 220x290

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola...

Lukwago atongozza ebimmotoka ebiyoola kazambi

Mab2 220x290

Male Mabirizi atutte Gavumenti...

Male Mabirizi atutte Gavumenti mu kkooti

Hb1 220x290

Abalabirizi baagala kusisinkana...

Abalabirizi baagala kusisinkana Kabaka

Kib2 220x290

Aketalo nga URA etunda mmotoka...

Aketalo nga URA etunda mmotoka ne pikipiki ku nnyonda.