TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte 10 ababba waya z'amasannyalaze ne bafeesa

Bakutte 10 ababba waya z'amasannyalaze ne bafeesa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Poliisi ye Lwengo ekutte abagambibwa okubba waya z'amasannyalaze. Omusango bagwegaanyi

Lwengoabakwatiddwangababbawayazamasanyalaezeelwengoweb 703x422

Abaakwatte nga bali ku poliisi e Lwengo.

 Bya FLORENCE TUMUPENDE

POLIISI y'e Lwengo ng'ekulembeddwaamu omuduumizi waayo, Fellix Mugizi erinnye eggere mu babbi abaludde nga bafiiriza  Gavumenti, bwe bakutte ne waya z'amasannyalaze agasaasanyizibwa mu byalo nga bazitambuliza mu mmotoka ya buyonjo namba UAZ 161Q n'ebaggalira.

Abaakwate kuliko; Vincent Kayondo 25, David Byansi 24, Anthony Kalagala 28, Ronald Lubega 20, Abubakali Mutebi 19, Shakib Mbabaali 25, Benson Kamugisha 26, Dickson Nankunda 19, Immaculate Natukunda 28 ne

Geofrey Ssemuwaya 27. Bano nzaalwa mu bitundu okuli; Lyantonde ne Lwengo.

 Poliisi okusitukiramu okubakwata  kiddiridde abatuuze

duumira poliisi ye wengo pc ellix ugiziAduumira poliisi y'e Lwengo Dpc Fellix Mugizi

okwemulugunya ku bubbi bwa waya z'amasannyalaze ezitwalibwa  ne tulansifooma obuyitiridde nga balowooza nti ababitwala bakozi mu kitongole ky’amasannyalaze kyokka ne balinda amasannyalaze okuddako nga buteerere.

Kino kivuddeko okuzingamya emirimu gyabwe kw’ossa n'okwonoona erinnya lya Gavumenti, olw'abatuuze ababadde bagivuma buli kadde nga

bagiranga okubakookoonya amasannyalaze kyokka ne basigaza ebikondo byagwo.

Kigambibwa nti waya zino babadde balina gye bazitunda olw’okuba ez’ettunzi olwo  ne bayoola

omudidi.

Wabula abakwate beegaanyi  eky'okubba ne  bagamba

nti babasibako matu ga mbuzi  kubaliisa ngo .

Aduumira poliisi y'e Lwengo Fellix Mugizi akakasiza okukwatibwa kw’abasajja bano n'omukazi. Yagambye nti bagenda kubakunya bamanye wa gye babadde batwala waya zino na baani abazigula.

 mmotoka mwe baabadde batambuliza omunyago Emmotoka mwe baabadde batambuliza omunyago.

Ekikwekweto kino kye bayise ‘Silent Operation’ kya kubuna buli wamu.

Poliisi yalabudde nti anaakwatibwa nga yeenyigidde mu bubbi buno waakuvunaanibwa.

Abakwate bagguddwako omusango gw'obubbi ku fayiro nnamba LWG CRB/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo