TOP

Asabye abazadde okuyigiriza abaana empisa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Asabye abazadde okuyigiriza abaana empisa kiyambe ku nkulaakulana ye ggwanga.

Namboozebetty 703x422

Nambooze ng'ayogera eri abatuuze

BYA JOANITA NAKATTE
 
omubaka akiikirira munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke asabye abazadde okufaayo okukuza abaana nga balina empisa kubanga kye kijja okubbulula eggwanga lino.
 
Bino yabyogedde bwe yabadde ayita mu munisipaali y’e Mukono ne mu divizoni eye Goma bwe yabadde agenda abuuza ku batuuze. 
 
Yategeezezza ekimu ku bivuddeko obuzibu mu ggwanga lyaffe kwe kuba ng’abantu abamu ennaku zino tebalina mpisa nga kye bavudde beenyigira mu kubba ssente za Gavumenti, okutuusa ku balala ebisago n’okulya enguzi.
 
Yasabye abavubuka naddala abakkiririza mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo, okuzza obugya omwoyo gw’eggwanga ogubadde gutandise okusereba.
 
Ate ye ssentebe wa divisoni eye Goma Erisa Wamala Nkoyoyo yategeezezza ab’e Nantabulirwa nti ku lwobulungi bweyokwerinda bawaliriziddwa okwawulamu ekyalo.
 
Yagambye nti babadde bakaluubirirwa okubatuusaako empeereza ez’enjawulo olw’obungi bwabwe.
 
Yasabye ba Ssentebe b’ebyalo ebigenda okwawulwamu okukomya obukuubagano bwonna obubadde wakati waabwe, n’abakuutira okukolaganira awamu  basobole  okukulaakulanya ebyalo byabwe, 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira