TOP

Famire y'owa Kibooko Squad ekukkulumye

By Hannington Nkalubo

Added 14th March 2019

“Poliisi tetumanyi oba teyategedde mu budde kubanga tewali kintu kyonna kye yeenyigiddemu. Poliisi teyaziise wadde okuweereza obubaka era tukyalindiridde kyegenda okukola,” Wasswa bwe yagambye.

Webbackfire32 703x422

Back Fire eyafudde

FAMIRE y’abadde akulira ekibinja ky’abakubi ba kibooko (kibooko squad) ekukkulumidde ebitongole bya Gavumenti ebikuumaddembe ebibadde bikozesa omuntu waabwe nti tebikoze kimala kutaasa bulamu bwe.

Bategeezezza nti Hakim Kayiza yayagala Gavumenti n’atuuka n’okwetuuma Juma Ssemakula ng’erikola emirimu gya Gavumenti ye Back Fire.

Omu ku bafamire Jamir Wasswa Mukiibi yategeezezza nti Back Fire yafudde bubi kubanga yali yeggya ku bafamire nga yasalawo obulamu bwe bwonna kuweereza Gavumenti kyokka mu biseera bye eby’oluvannyuma ate n’emuvaamu n’etemuziika mu kitiibwa.

“Poliisi tetumanyi oba teyategedde mu budde kubanga tewali kintu kyonna kye yeenyigiddemu. Poliisi teyaziise wadde okuweereza obubaka era tukyalindiridde kyegenda okukola,” Wasswa bwe yagambye.

Yategeezezza nti Back Fire alese abaana babiri kyokka baasigadde mu bbanga. Yasabye ebitongole by’abadde akolera bayambeko ku baana waakiri babafunire ekifo we babeera.

Back Fire yasangiddwa ng’afiiridde ku mwala ekiro. Kigambibwa nti yabadde agenda mu Kisenyi. 

Omwaka oguwedde ekibinja ky’abamenyi b’amateeka baamuteega ne bamukuba bubi nga kigambibwa nti yali asusizza okubayigga.

Back Fire era yaweebwa ku butwa n’akomayo. Abadde musajja ng’ayigga abamenyi b’amateeka n’abakwasa poliisi. Yaziikiddwa Naggalama ku Lwokusatu.Wasswa yategeezezza nti Back Fire  yava dda mu kyalo, abadde taddangayo okuva taata we Juma Mugomba okubuzibwawo mu biseera by’olutalo olwaleeta Gavumenti nga mutabani we abadde mu byakwerinda.

 Omwogezi wa poliisi Patrick Onyango yategeezezza nti abafamire bagende bategeeze poliisi ebannyonnyole eky’okukola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...