TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gasibye omujaasi waago emyaka 80 lwa kutta muntu

Amagye gasibye omujaasi waago emyaka 80 lwa kutta muntu

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

OWA UPDF eyatta omuntu asibiddwa emyaka 80

Gombe52web 703x422

Cpl. Bingi ku mpingu.

Bya WASSWA B. SSENTONGO

OMUJAASI wa UPDF eyalumba abatuuze b’e Kitungwa n'abakuba amasasi n'attako omu n'alumya babiri akiguddeko. Kkooti y'amagye eyatudde okumala ennaku ssatu mu kyalo gye yaddiza emisango emusalidde okusibwa emyaka 80 e Luzira.

Kkooti eyatudde ku kitebe ky'e ggombolola y’e Gombe mu Wakiso ng’ekubirizibwa Col: Edson Muhanguzi ye yakalize Cpl. Thomas Bingi emyaka 80 mu kkomera.

 Col: Muhanguzi bwe yabadde tannaba kuwa nsala ye, omuwaabi wa gavumenti Mark Omondi yafundikidde obujulizi bwe ng'agamba nti omujaasi ono asaanidde okuweebwa ekibonerezo ekimusaana kuba yalimba kkooti nga bwe yatabuka omutwe kyokka nga mulamu.

 Omondi yagambye nti obujulizi obwaleeteddwa bulaga nti Cpl. Bingi ye yakola emisango gino gyonna ate nga emabega azze akola ebikolobero ebirala. Yagasseeko nti ono ssinga bamuwa ekibonerezo ekitono ate n'akomawo mu bantu asobola okufuuka ow’omutawaana n'atandika okutigomya bannayuganda n'asaba omulamuzi atwale ensonga eno nga nkulu nnyo.

 hionah akayi ali olubuto lwomugenzi kirumira Phionah Nakayi ali olubuto lw'omugenzi kirumira

 

 Wabula ye looya wa Cpl: Bingi Lt. Emmanuel Alihihi yakubye ebituli mu bujulizi obwaleeteddwa mu kkooti.

 Yagambye nti ebbaluwa y’abasawo eyalaze nti Godfrey Kirumira yafa masasi baagitankanye ng’omusawo ye yabadde alina okujja mu kkooti okuginnyonnyola obulungi nga n’abajulizi abamu abaleeteddwa mu kkooti, obujulizi bwabwe bw'abadde tebamatiza.

 Lt. Alihihi yasoose kusaba kkooti emuwe ekibonerezo esisaamusaamu kuba alina siriimu ate alina abakyala babiri n’abaana bana. ng'ali mu kkomera.

 Mu kkooti mwabaddemu ne nnamwandu wa Kirumira gwe yaleka n’olubuto ng'asuliridde kuzaala n'asaba gavumenti emudduukirire kuba talina buyambi okwebezaawo n’omwana ate nga essaawa yonna azaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi