TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti ebuuliriza ku Bannayuganda abasuubulira e Juba abaafiirwa ebyabwe ne batasasulwa

Palamenti ebuuliriza ku Bannayuganda abasuubulira e Juba abaafiirwa ebyabwe ne batasasulwa

By Muwanga Kakooza

Added 14th March 2019

Akakiiko kali mu kwekenneenya okulaba abasuubuzi abaasasulwa n’abataasasulwa. Kigambibwa nti ku makampuni 33 palamenti ge yakkiriza gavumenti egaliyirire amakampuni 10 gokka ge gaaliyirirwa.

Ugparl 703x422

PALAMENTI etandise okubuuliriza ku basuubuzi Bannayuganda abeemulugunya nti baafiirwa ebyabwe bye batwala  e South Sudan ne bitasasulwa, gavumenti ya Uganda n’ebasuubiza okubaliyirira kyokka ne kitakolebwa.

Abamu ku basuubuzi bano baafiirwa ebyabwe nga n’olutalo lw’e Sudan olwaliwo mu 2013 terunnabalukawo ng’ate abalala ebintu byabwe byawambibwa nga babitutteyo ne batasasulwa  era beemulugunya nti ssi kya bwenkanya okuba nga tebannaliyirirwa ng’ate bannaabwe abamu baaliyirirwa.

Abasuubuzi bano baabadde mu kakiiko ka palamenti akabuuliriza ku nsonga zino akakubirizibwa Ann M aria Nankabirwa (Kyankwanzi).

Akakiiko kali mu kwekenneenya okulaba abasuubuzi abaasasulwa n’abataasasulwa. Kigambibwa nti ku makampuni 33 palamenti ge yakkiriza gavumenti egaliyirire amakampuni 10 gokka ge gaaliyirirwa.

Nga sipiika Rebecca Kadaga tannalagira kya kussibwawo kakiiko kano, abamu ku babaka babadde beemulugunya nti okuliyirira abasuubuzi tekwalimu bwenkanya ng’abamu baafikka.

 ipiika ebecca adaga Sipiika Rebecca Kadaga

Omubaka Muhammad Nsereko (Kampala) eyakulembedde abasuubuzi okubatwala mu kakiiko yagambye nti gavumenti yasasula amakampuni 10 omudidi gw’ensimbi amalala 23 ne gasigala mu bbanga.

‘’Obukadde bwa ddoola 56 (eza Uganda zikunukkiriza mu buwumbi 170 ) ezassibwawo okuliyirira abasuubuzi bano tezaagabanyizibwa bulungi. Amakampuni 10 agaasasulwa obukadde bwa ddoola 41 (eza Uganda obuwumbi 123) omwaka guno ate zaali zaasasulwa dda endala obukadde bwa ddoola 15 ( eza Uganda obuwumbi 45) nga 2016 tannatuuka,’’ Nsereko bwe yagambye. N’agattako  nti n’ezimu ku kkampuni ezaasasulwa tezaali za Bannayuganda.

Amos Byamugisha owa  Amos Investments yagambye nti amakampuni agamu agaali gasasuddwa era gaalabikira ne lukalala olwokubiri era gaddemu okusasulwa.

 Nankabirwa yasuubizza abasuubuzi nti akakiiko kagenda kufuba okulaba ng’ensonga zaabwe zikolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte