TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi bawanjagidde Kanso ku kaabuyonjo eyaggalwa

Abasuubuzi bawanjagidde Kanso ku kaabuyonjo eyaggalwa

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Abasuubuzi b’omu katale ka Kame mu Munisipaali y’e Mukono bawanjagidde Munisipo Kanso ku nsonga y’okubaggalira kaabuyonjo kati wiiki ssatu.

Kaabuyonjoezaggalwa 703x422

Kaabuyonjo ezaaggalwa mu katale ka Kame e Mukono.

 BYA JOANITA NAKATTE

Abasuubuzi b’omu katale ka Kame mu Munisipaali y’e Mukono bawanjagidde Munisipo Kanso ku nsonga y’okubaggalira kaabuyonjo kati wiiki ssatu.

Bano abaabadde abanyiivu baategeezezza nga aba Kanso bwe baasalawo okuggala kaabuyonjo yaabwe  oluvannyuma lw’okugezaako okugiggyamu obubi,  omulimu ne batagumaliriza. Bagamba nti baali baabasuubiza okugumaliriza enkeera kyokka  babalinda tebandanga.

"Baatunnyonnyola obuzibu obwaliwo nti kaabuyonjo yali yeetaaga okuddaabirizibwa nga tetunnaba kuddamu kugikozesa ne tukkiriziganya  okugiggala. Baatusuubiza okudda mu bwangu okugikola wabula tulabika nga tetukyasobola kubagumiikiriza,tugenda mu mwezi kati mulamba tetulina waakweyamba," abasuubuzi bwe baagambye.

 

 mu ku batunda emmere okuliraana kaabuyonjo ngannyonnyola obuzibu bwe bayitamu Omu ku batunda emmere okuliraana kaabuyonjo ng'annyonnyola obuzibu bwe bayitamu.

 

Aisha Namuli omu ku batunda emmere okuliraana kaabuyonjo zino we zaazimbibwa yagambye nti asanze obuzibu mu kiseera kano olw’abantu okweyambanga mu buveera ne babukweka wansi w’omudaala gwe n’abamuliraanye.

Ye kkansala w’ekitundu kino akatale mwe kali, Allan Mawanda yennyamidde olwa Kanso okukozesa ensimbi z’empooza ze basolooza mu basuubuzi bano mu bintu ebyandibadde bikolebwako oluvannyuma ne basembyayo ensonga ez’omugaso ng’ okuddaabiriza kaabuyonjo eno.

Ate ye Josiam Sserunjogi yinginiya wa Munisipo Kanso avunaanyizibwa ku nsonga zino yeetonze olw’obuzibu buno era n’abategeeza nga bwe wabaddewo obuzibu bw’emidumu gy’amazzi n’egitwala kazambi okuba nga gyazibikira, nga gino gye gikakeeyereza okumaliriza omulimu ogwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi