TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nawangwe atabaganye ne gwe yayimiriza ku mulimu e Makerere

Nawangwe atabaganye ne gwe yayimiriza ku mulimu e Makerere

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

OBUTAKAANYA obubaddewo wakati w’akulira ekibiina ekigatta abasomesa b’e Makerere ekya (MUASA ), Dr Deus Kamunyu ne mukama we omumyuka w’akulira ettendekero lino , Polof. Barnabas Nawangwe buweddewo oluvannyuma lw’okukaanya kwe batuuseeko ne batabaganyizibwa kkooti.

Laba 703x422

Yunivasite e Makerere yafulumizza ekiwandiiko ng’eraga nti enjuyi zombi zituuse ku kukaanya ku nsonga z’omusango Kamunyu gwe yawawabira Nawangwe.

‘’Olw’ensonga z’enteseganya ezigenda maaso e Makerere ,abakulira yunivasite bakaanyizza ne Dr. Deus Kamunyu Muhwezi mu maaso ga kkooti okuleka omusango (Kamunyu) gwe yawawabira Nawangwe. ” ekiwandiiko ekyafulumiziddwa  Dr Muhammad Kiggundu,akulira eby’ebyamawulire bwe kyategezezza.

 “Olw’okukaanya kuno eby’okuyimiriza Kamunyu ku mulimu bisaziddwaamu.Era ensonga zigenda kukolebwa akakiiko ka yunivasite ak’empisa n’akagaba emirimu’’ ekiwandiiko bwe kyategeezezza.Kamunyu bwe yatuukiriddwa yagambye nti yabadde awulira okutowolokoka  olw’okusazibwamu kw’eby’okuyimirizibwa kwe ku mulimu.

Yagambye nti yalabiseeko mu maaso g’akakiiko k’empisa e Makerere kyokka n’abasaba kamuwe obudde yewozeeko. ‘’Ngenda kuddayo nsomese era n’emirimu gya MUASA ngenda kusigala ngikola’’ bwe yagambye.

Kamunyu  yali awawabidde yunivasite y’e Makerere ne Polof. Nawangwe ng’awakanya eby’okumuyimiriza ku mulimu n’okussibwawo eby’okuwozesebwa ku yunivasite.

Nawangwe yayimiriza  Kamunyu nga January 18,2019  ng’amulumiriza okuba n’empisa ensiwuufu. Yayimirizibwa n’abakozi ba yunivasite abalala okuli;  Bennet Magara ne Joseph Kalema ow’ekibiina ekigatta abakulira yunivasite ekya ‘’Makerere Administrative Staff Association.’’ .Okuyimirizibwa kw’abakulu bano kyanyiiza abakozi ba yunivasite na bagenda mu kwekalakaasa okumala omwezi mulamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte