TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Abalamuzi mubeere beerufu mu nkola y'emirimu’

‘Abalamuzi mubeere beerufu mu nkola y'emirimu’

By Edward Luyimbazi

Added 14th March 2019

OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo mwennyamivu olw’abantu abatakyesiga kkooti nga baziyita ez’abagagga n’akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango.

Ma 703x422

Owiny Dollo (wakati) ng’atongoza lipoota ya 2018 ekwata ku kuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde 10 ku Ttendekero ly’ekitongole ekiramuzi e Nakawa. Ku kkono ye Mulamuzi Geofrey Kiryabwire ate ku ddyo ye mulamuzi Peter Adonyo.

Okwogera bino yabadde aggulawo olusirika lw’abalamuzi nga bakubaganya ebirowoozo ku nkola ya kkooti ey’okuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde ekkumi ku ttendekero ly’ekitongole ekiramuzi e Nakawa.

Dollo yagambye nti abantu abamu balowooza nti kkooti zigendebwamu bantu bagagga nga kino kiva ku ngeri abalamuzi abamu gye bakwatamu emisango gyabwe n’agamba nti okusobola okumalawo endowooza eno, abalamuzi balina okwewala okubeera ne kyekubiira.

Dollo yasiimye omulamuzi Geoffrey Kiryabwire eyatandikawo enkola ey’okuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde 10 nga teyeetaagisa bantu bawaaba misango kukozesa balooya era nga nnyangu ng’emisango giggwa mangu.

N’agamba nti singa Bannayuganda abaavu bagyettanira bajja kufuna obwenkanya.

Yeebazizza Kiryabwire olwa lipooti gye yafunye ng’eraga nti ssente z’amabanja ezisukka mu buwumbi 10 ze basobodde okutaasa mu nkola eno mu 2018 era kiyambyeko ku byenfuna by’eggwanga .

Omulamuzi Kiryabwire ssentebe w’enkola eno yagambye nti kati bawezezza emyaka musanvu bukya batandika nkola eno era abantu bagyettanidde.

Agambye nti abantu baali bakaaba enkola enkadde eya kkooti ng’abantu bwe baleeta emisango egirimu amabanja ga ssente eziri mu kakadde kamu kyali kitwala obudde bungi okugimaliriza era abamu ne bakomekkereza nga tebazifunye.

Wabula yategeezezza nti kkooti zikyali ntono ezikozesa enkola eno nga ziri 55 mu ggwanga lyonna.

Ate Lilian Bucyana omuwandiisi wa kkooti ezikola ku nkola eno agambye nti enkola eno eyambye abasuubuzi abamu kubanga bwe bazifuna okuva mu mabanja bazizzaayo ne baziteeka mu bizinensi zaabwe ekiziyamba okukula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...