TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga ayagala wassibwewo ensawo y'okuyamba abakazi abali mu nkambi z'abanoonya obubudamu

Kadaga ayagala wassibwewo ensawo y'okuyamba abakazi abali mu nkambi z'abanoonya obubudamu

By Muwanga Kakooza

Added 14th March 2019

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye wassibwewo ensawo ey’enjawulo okudduukirira abakazi abali mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamu n’ebitundu byonna ebirimu obutabanguko kibayambe okulabirira abaana n’okwebezaawo.

Olaga 703x422

Okuva ku kkono omubaka wa Uganda e Morocco Alintuma Nsambu,sipiika Kadaga,ne munne ow’e Qatar, Ahmed Abdullah n’abalala.

Uganda erina abanoonyi b’obudamu akakadde kamu n’emitwalo 20. Bava mu mawanga g’omulirwano nga South Sudan, Congo, Burundi,Somali, Burundi n’ewala. Era abatunuulizi b’embeera eno bazze basiima Uganda olw’okuba n’omutima ogw’ekisa.

Kyokka Kadaga agamba nti abakazi abali mu nkambi z’abanoonya obubudamu tebabeera na basajja kuba abamu baba bafudde ng’abalala babeera mu ntalo nga balwana nga tebalina biseera bya kulabirira maka gaabwe.

Bino yabyogeredde mu lukung’ana lwa ba sipiika ba palamenti z’amawanga agalimu Obusiraamu  olwa ‘ Parliamentary Union of the Organisation of Islamic Cooperation Conference’ olwabadde mu kibuga Rabat ekya Morocco.  Era lwakubaganyizza ebirowoozo ku butabanguko  mu North Africa ne Buwarabu n’okutema empenda z’okubumalawo.

Kadaga yaggumizza: ‘’Okubeera maama mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu kulina okusomooza kunene. Taata w’abaana ayinza okuba yafa dda oba ng’ali mu kulwana n’olwekyo omugugu gw’okulabirira abaana gubeera ku mukazi’’ Kadaga bwe yagambye.

N’asaba wassibwewo ensawo eyamba abakazi bano kikendeeze okubonabona.

Kadaga yagambye nti abavubuka basanidde okuyambibwa baleme kutindigganga ng’endo mpanvu kuva mu nsi zaabwe kugenda ku mawanga kuyigga mirimu.

N’agamba nti embeera embi yebatamya ewaabwe ne bagenda ku byeyo.Yabasabye okutema empenda z’okumalawo obutabanguko obuvaako abantu okudduka mu mawanga gaabwe.

Mu lukiiko Kadaga yasisinkanye sipiika munne Ahmed Abdullah bin Zaid ow’e Qatar ne bakiriziganya okwongera okukwatagana ku ngeri eyamba amawanga gombi.Kadaga yembazizza olw’obuyambi Qatar bw’ewa Uganda n’amawanga ga Afrika amalala  omuli n’okufunira abantu b’oku lukalu luno emikisa okukolera mu ggwanga eryo.

Ababaka abalala abeetabye mu lukung’ana kuliko; Latif Ssebaggala (Kawempe North),Sarah Nakawunde (Mpigi),Zaituni Driwaru (Yumbe) ne Ogama Ali Ismail (Madi) ne Abas Agaba (Kitagwenda).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte