TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango.

Omumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango.

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango. Era agamba nti abantu balowooza kkooti zigendebwamu bantu baggaga nga kiva ku ngeri abalamuzi gye bakwatamu emisango egimu.

EDWARD LUYIMBAAZI
 
OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango.
 
Okwogera bino abadde aggulawo olusirika lwa balamuzi nga bakubaganya ebirowoozo ku nkola ya kkooti  ey’okuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde ekkumi ku ttendekero ly’ekitongole ekiramuzi e Nakawa.
 
Dollo yagambye nti abantu abamu  balowooza nti  kkooti zigendebwamu bantu bagagga nga kino kiva ku ngeri abalamuzi abamu gye bakwatamu emisango gyabwe. n’agamba nti okumalawo endowooza eno abalamuzi balina okwewala okubeera nekyekubiira.
 
Ddolo yasiimye omulamuzi  Geofrey Kiryabwire eyatandikawo enkola eno ey’okuwozesa emisango egiri wansi wobukadde 10 nga teyeetaagisa bantu bawaba misango kukozesa balooya. Nagamba nti ssinga bannayuganda abaavu bagyettanira bajja kufuna obwenkanya.
 
Yeebaziza Kiryabwire olwa lipooti  gye yafunye ng’eraga nti ssente z’amabanja ezisukka mu buwumbi 10 ze basobodde  okutaasa mu nkola eno mu mwaka gwa 2018.
 
Omulamuzi Geofrey Kiryabwire Ssentebe w’enkola eno yagambye nti kati bawezezza emyaka 7 bukya bagitandika.
 Wabula  nagamba nti kkooti  zikyali ntono ezikozesa  enkola era nga ziri 55 mu ggwanga lyonna.
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono