TOP

Eddembe eriweebwa omukyala mu Busiraamu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

OMUBAKA Muhammad (S.A.W) yagamba nti, okwonooneka kw’ensi, Allah akuyisiza ku bakyala era nga n’okutereera kw’ensi ku bo kw’akuyisiza.

Lwana 703x422

Abakyala nga basaala.

Abakyala bakola omulimu munene ku kukula kw’ensi kubanga era n’omubaka Muhammad olwafuna obubaka obwasooka yaddukira eri mukyala (Khadijah).

Ensi yakuzizza olunaku lw'abakyala naye abantu abamu balina endowooza nti, Obusiraamu bwaleka omukyala emabega nga tebulaga ddembe na kitiibwa kye.

Sheikh Imran Ssali, Imaam ku muzikiti ogwa Gadaffi National Mosque e Kampalamukadde annyonnyola n’akiraga nti kino si kituufu okusinziira ku Busiraamu kuba bwe businga okukissa mu nkola.

Ekitusoomooza kwe kuba nti, twalemererwa okussa mu nkola eddembe ly'abakyala bennyini ekireetera abakyala obutekkiririzaamu ate baatandika enneeyisa enkopperere ezikontana n'enzikiriza Abakyala edda baayisibwangamu amaaso okuli n'okubakubirako ebifaananyi ebibi awamu n’enjogera embi ng’abaagambanga nti bw'okeera okusanga omukyala kibeera kisiraani ekitali kituufu kubanga Obusiraamu bugulumiza omukyala nga bumuwa eddembe lye.

ENGERI OMUKYALA GY’AWEEBWA EDDEMBE

1 Mu Busiraamu omukazi n'omusajja bali kimu mu butonde ng'omu ava mu munne ate omulala y'ajjuza omulala. Mu Surat Hujiraati aya 13, Allah agamba nti omukazi n'omusajja obutonde bwe bumu enjawulo ya kutya Allah.

2 Maama ateekwa okufuna omugabo gwe nga gusinga ku gwa taata. Surat Ahkaafu aya 15 eraga nti, newankubadde bombi bazadde, maama y'asinga. Essuula emuwa ekitiibwa n'eddembe okumusembereza omwana era omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba nti, maama wa nkizo emirundi esatu era aweebwa ebitundu 75 ku 100 okusinga taata.

3 Ng'omukyala mu maka, omusajja abeera amuvunaanyizibwako mu ngeri ey'okumwambaza, okumulabirira n'ebirala. Nabbi Muhammad (S.A.W) yalaamira abaami okuyisa obulungi bakyala baabwe era akikola ye mulungi asinga.

4 Ng'omuwala omuto: Omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba omuntu alabirira omwana omuwala n’amukuza bulungi era agenda kufuna Ejjana ye.

5 Nga mwannyoko: Omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba nti, omu ku mmwe bw’abeera ne bannyina n'abakuza bulungi Allah tayinza butamuyingiza Jjana. Eddembe ly'omukyala lyeyolekera mu ngeri nnyingi omuli:

1 Alina kulabirirwa nga kudda eri oyo amuvunaanyizibwako. Mu Surati Nisa aya 34, Allah agamba nti abasajja be beeyimirize b'abakyala.

2 Okubaako n'omugabo gw’aweebwa mu mmaali ya muzadde we. Mu Surati Nisa aya 5 ne 6, Allah agamba nti, abasajja balina omugabo mw’ebyo ebirekeddwa bakadde baabwe n'abeηηanda zaabwe, n'abakazi balina omugabo ka bibeere nga bitono oba nga bingi.

3 Obusiraamu busukkulumya omwana omulenzi olw'obuvunaanyizibwa bw'alina okusinga ku muwala era okwo tekuba kulyazaamaanya.

4 Alina okuweebwa ‘amahare’ awamu ne ku birabo ng’akasiimo ekitaaliwo ng'Obusiraamu tebunnasaasaana.

5 Bonna bakakatibwako okusoma kyenkanyi ng'abalenzi kuba Omubaka Muhammad (S.A.W) yagamba nti, okunoonya okumanya kukakata ku buli Musiraamu abeere mukazi oba omusajja.

6 Obusiraamu buwa ekitiibwa endowooza ye ku kintu ng'awulirizibwa ate n'okugitwala nga kikulu. Surati Mujaadala aya 1, eraga nti abantu tebalina kuvuvuba ndowooza ye ng'omuwala.

7 Bumukkiriza okwesalirawo ku ani gw’anaafumbirwa sso si kugenda n’abalala kye bamusalirawo.

8 Okweyambulula omusajja nga bafunye obutakkaanya ne baawukana.

9 Tewali kunyigiriza mukazi naddala ku mirimu emirungi era bombi n’omusajja ku mulimu omulungi ogukoledwa benkanankana.

Mu Surati Nahar aya 97, Allah agamba nti kasita obeera mukkiriza ojja kufuna Ejjana ey’omulimu omulungi gw'okoze.

10 Mu byenfuna, omukyala ateekwa okubeera n'ekikye naddala mu mmaali nga si ya musajja era ekikye tekiba kya musajja okuggyako ng'amuwadde mu mutima omulungi.

Abakyala balina okwekkiririzaamu nti, eddembe lyabwe weeriri era bamanye nti balirina n'okusinga abo ababalaga nti be bafaayo okubatuusaako eddembe lyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...