TOP

Alabudde abalimisa ku nkozesa ya pikipiki

By Ssennabulya Baagalayina

Added 15th March 2019

Abakulembeze b'e Kalungu balambudde abalimisa ku nkozesa ya pikipiki ezaabaweereddwa.

Pikipiki15 703x422

ABOOBUYIINZA mu disitulikiti y'e Kalungu batadde obukwakkulizo ku balimisa n'abasawo b'ebisolo nti pikipiki ezaabakwasiddwa bazikuume butiribiri kuba gwe bannagibbako ajja kugiriwa n'omulimu gumufe.

Baboongeddeko nti pikipiki zibaweereddwa kubawewulira ku ntambula n'ebiruubirirwa by'okutumbula ebyobulunzi n'obulimi mu Kalungu nga batuuka ku buli mutuuze. Omukolo gw'okuzibakwasa gwakuliddwa akulira abakozi Philda Nabirye Kyendibayiza ne  Ssentebe wa LC5 Richard Kyabaggu n'abakungu abalala.

Baakung'anidde ku kitebe kya disitulikiti e Kalungu ng'akulira ekitongole ky'ebyobulimi,obulunzi n'obuvubi Paulo Kiyemba n'ategeeza nti babadde bakaluubirizibwa mu byentambula. CAO Kyendibayiza yabasoomozezza nti kati Kalungu abasuubiramu kumutwala mu maaso mu byenfuna ebivudde mu bulimi n'obulunzi.

Yabalagidde nti beeyambise obukugu bw'ebitabo balung'amye abalunzi n'abalimi mu bukugu obw'omutindo kibayambe okufuna amakungula amangi. Kyabaggu yagambye nti pikipiki zaaguliddwa wakati w'obukadde 17 na 21 buli emu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo