TOP

Alumirizza bba okumusalako emimwa

By peter ssaava

Added 15th March 2019

KKOOTI ento e Wakiso esindise omusajja mu kkomera e Luzira ku musango ogumuvunaanibwa ogw’okusalako mukyala we emimwa ssaako okumukomerera emisumaali mu mutwe.

Pata 703x422

Nabuufu ng’alaga ekifaananyi ekyamukubwa ng’ali mu ddwaaliro. Baabadde mu kkooti e Wakiso. Mu katono (wakati) Nabuufu bw’afaanana.

Patrick Juma Mutiri eyali akulira eby’ensoma mu Kasubi SS ye yasindikiddwa e Luzira Omulamuzi wa kkooti e Wakiso, Esther Nakadama Mubiru ku misango egimuvunaanibwa egy’okutulugunya mukyala we, Aidah Nabuufu n’ekigendererwa eky’okumutta.

Yatuusiddwa mu kkooti ku ssaawa 4:00 ez’oku makya g’Olwokusatu ng’ateekeddwaako empingu wakati mu bukuumi okuva mu baserikale b’amakomera.

Omulamuzi Nakadama yamusomedde emisango ebiri okuli ogw’okutulugunya mukyala we, n’ogwokugezaako okutta omuntu.

Mutiri ng’ayita mu puliida we, Fred Mugisha, yasabye kkooti ebaweemu obudde okweken neenya omusango guno nga bwe kiri nti lwe lunaku olwasoose okuguwulira era omulamuzi Nakadama n’awa eddakiika 30 eza kkooti okuwummulamu.

Kkooti bwe yazzeemu okutuula, Nabuufu yawadde obujulizi ku byaliwo.

Yategeezezza nti nga November 7, 2018 yannyuka mangu ku mulimu olw’okuba yalinamu obukosefu, awaka yatuuka ku ssaawa 2:00 ez’ekiro. Yali abeera Kasengejje ku kyalo Bugembegembe mu Disitulikiti y’e Wakiso.

Yagambye nti bw’atuuka awaka, yasanga omukozi w’awaka Janet Nakagolo ali mu maziga era mu kumubuuza ky’abadde yamutegeeza nga Mutiri bw’abadde amukaka omukwano era mu kugaana n’amukuba bubi nnyo.

“Mulamuzi kino kyannyiiza nnyo era mu busungu obungi ne nnyingira mu nnyumba ne ntandika okuyombesa baze oluvannyuma ne mutegeeza nga bwe hhenda okusula ewa muganda wange ebiri awaka sijja kubisobola,” Nabuufu bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bba yasalawo n’afuluma enju n’abalekamu n’omukozi olwo bbo ne beggalira ne beebaka.

Agamba tamanyi ngeri Mutiri gye yaggulawo kuyingira kuba baali basibyewo enzigi zonna era yeekanga kumulaba ng’ateekako ettaala oluvannyuma n’agiggyako n’ekyaddirira yawulira jjambiya ng’emusala ku mimwa era bwe yamaliriza n’adduka.

Nabuufu olw’obulumi yaleekaana nnyo abakozi abaali mu nnyumba ne badduka okuyita baliraanwa abaaleeta mmotoka eyamutwala mu Case Hospital.

Eno gye baamutegeereza nti bba yasoose kumukuba misumaali mu mutwe ne gibulirayo, okumusalako ekitundu ky’olulimi ssaako n’okumukuba amannyo era agamu ne gavaamu ky’alowooza nti yasooka kumukuba kalifoomu n’amukolako obulabe buno ng’okudda engulu we yamwekangira ng’amusalira emimwa.

Oluvannyuma lw’obujulizi buno, looya wa Mutiri, Fred Mugisha yasabye omulamuzi ayimbule Mutiri ku kakalu ka kkooti kuba alina obuvune obwamutuusibwako mu kkomera nga baakamukwata.

Omulamuzi yayise abeeyimiridde Mutiri era baabadde basatu wabula ebbaluwa z’ekyalo ze baaleese nga zikontana ne densite z’ebyalo ate ng’omu asula mu kifo kya njawulo ne kkooti weeri.

Omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso Emily Ninsiima yategeezezza nti singa Mutiri ateebwa kijja kuba kizibu okuddamu okumufuna kuba omusango yaguzza mu November naye abadde yeekwese okutuusa mu February lwe yakwatiddwa.

Omulamuzi Nakadama kwe yasinzidde n’agaana okusaba kwa looya wa Mutiri okweyimirirwa era omusango n’agwongezaayo okutuusa April 3 omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi