TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyindi yafuna obutuuze bwa Uganda nga talina biwandiiko

Omuyindi yafuna obutuuze bwa Uganda nga talina biwandiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

AKOLA nga dayirekita w’okuwandiisa abatuuze n’abagwiira abayingira mu Uganda, Patrick Cheborion yeewuunyisizza akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka bwe yakategeezezza nti, omuntu asobola okufuna paasipooti ya Uganda oluvannyuma n’alyoka akola ku mpapula ezirambika obutuuze bwe.

Sajja 703x422

Omuyindi Paresh M. Patel (ku kkono) ne Patrick Cheborion (ku ddyo) nga bava mu kakiiko.

Eggulo Cheborion yabadde mu maaso g’Omulamuzi Catherine Bamugemereire, akulira akakiiko ng’annyonnyola ku ngeri Omuyindi Paresh M. Patel, gye yafunamu ebiwandiiko ebimuwa obutuuze bwa Uganda asobole okugula ettaka lya mayiro eritaweebwa mugwiira mu Uganda.

Etteeka ly’ettaka lirambika nti, omugwiira mu Uganda bw’abeera agula ettaka bamuwa liizi so ssi kumuguza ttaka n’afuna obwannannyini obwenkomeredde.

Ettaka eryayisizza Cheborion lye lya Rose Mary Nabukenya ow’e Makerere Kagugube okuliraana LDC, eyaddukira mu kakiiko kamutaase kubanga abanene baalimutwalako ne balyeguza.

Nabukenya baamutwalako poloti 10 nga zino kwe kuli ey’Omuyindi gye yagula ng’ayita mu kkampuni ya Topcon Builders Ltd era akakiiko we kaatuukidde mu kitundu kino okulambula ettaka nga poloti 359 Omuyindi Patel yagisibako ekibaati.

Patel lwe baamuyita mu kakiiko yakategeeza nti, ye Munnayuganda kyokka akakiiko kaagenze okukola okunoonyereza nga kituufu Omuyindi alina paasipooti ya Uganda kyokka ebbaluwa emukkiriza okufuuka omutuuze yagifuna amaze okufuna paasipooti akakiiko kye kaagambye nti, kikontana n’amateeka kyokka ye Cheborion n’ategeeza nti amateeka gakikkiriza newankubadde nga baagenze okutanganjula ebiwandiiko nga waliwo Omuyindi by’ataawaayo ng’asaba obutuuze.

Paasipooti ya Uganda, Patel yagifuna 2014. Omuyindi ono yabaddewo mu kakiiko wabula nga buli lwe twagala okumukuba ebifaananyi ng’akwata mu maaso.

Ettaka lino Nabukenya ly’akaayanira abanene abalala abaaligabana kuliko mukyala Gladys Mukula.

Nabukenya lwe yagenda mu kakiiko yakannyonnyola nti, mu myaka gya 1970, Dr. Emmanuel Lumu eyali minisita mu gavumenti ya Obote, yazinda ewuwe n’ababbako ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka lino era mu kiseera kino poloti amanyi we ziri naye tamanyi bugazi bwa ttaka ly’alina.

Yannyonnyodde nti, Lumu yagenda aliguza abantu ab’enjawulo okuli Gladys Mukula n’abalala. Ettaka lino liri ku Bulooka 9 poloti 351 – 360.

Nnyina omugenzi Nnaalongo Maria Luwiza Ssenyonga yaligula 25,000/- mu 1953 okuva ku Eriab Nsubuga. We yaligulira baali tebannaba kulipunta, kyokka nnyina yafa 1998 era ettaka yaliraamira Nabukenya wadde nga yazaala abaana mukaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi