TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eremesezza Kiconco okugaana abatuuze okuzimba

Kkooti eremesezza Kiconco okugaana abatuuze okuzimba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2019

KKOOTI enkulu etawulula enkaayana z’ettaka egaanye okuwa Medard Kiconco ekiragiro ekiyimiriza abatuuze be Lusanja okuzimba.

United 703x422

Erias Lukwago (ku ddyo) n’abamu ku batuuze b’e Lusanja nga bava mu kkooti.

Kiconco yabadde asabye omulamuzi Samuel Emolot okugira ng’ayimirizza abatuuze okuzimba okutuusa nga kkooti emalirizza okuwulira omusango gwa nnannyini ttaka ly’e Lusanja omutuufu.

Kiconco yagambye nti singa kizuulwa nti ettaka lirye ate ng’abatuuze baddamu dda okuzimba kijja kumutaataaganya okuddamu okumenya amayumba gaabwe omulundi ogwokubiri ate abatuuze baddemu bafi irwe.

Wabula omulamuzi Emolot yagaanye okubaako ekiragiro kyonna ky’ayisa ku ttaka lino nga kkooti tenneesitula kugenda kulirambula okuzuulira ddala ekituufu.

Abatuuze olwawulidde nti kkooti egaanye okubayimiriza okuzimba, ne bakuba enduulu n’okusaakaanya era ne bawera nga bwe bagenda okwongera okuzimba amayumba gaabwe gaggwe.

Abatuuze 128 nga bayita mu looya waabwe Lukwago baaleese okusaba okupya mu kkooti nga baagala kkooti ebagatte kw’abo 12 Kiconco b’awawaabira nga bagamba nti ekiragiro kyonna kkooti ky’eneeyisa bwe kiba kikosa 12 nabo kijja kubakosa.

Bano era baategeezezza nti ekiragiro kya kkooti y’e Nabweru Kiconco kye yasooka okukozesa okumenya amayumba gaabwe kyaliko abantu 12 naye yamenya ag’abantu abasukka mu 150 abataali mu musango nga ku luno baagala bagattibwe mu musango bategeere byonna ebigenda mu maaso.

Omulamuzi Emolot yalagidde Lukwago okuwandiika byonna ebikwata ku bantu bano 120 era okusaba kwabwe ajja kuwulira nga April 15, 2019.

Gye buvuddeko Kiconco ng’akozesa wannyondo wa kkooti Moses Kirunda yamenya amayumba g’abatuuze b’e Lusanjja mu ngeri enkambwe ekyavaako Pulezidenti Museveni okwesitula n’atuuka ku ttaka n’agumya abantu nti Kiconco tali waggulu w’amateeka era ajja kukolebwako.

Wabula ye Kiconco yagambye nti omulamuzi obutamuwa kiragiro kiyimiriza bantu kuzimba ku ttaka lye akoze kikyamu kubanga omusango agenda kuguwangula era amayumba agaggyewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte